Nnaabagereka Sylvia Nagginda atongozza kaweefube w’okusonda ensimbi Ókulwaanyisa endwadde zémitwe mu bannauganda.
Enteekateeka eno agitongolezza ku Serena Hotel mu Kampala, mu nkola etuumiddwa Nabagereka Fund, Queen’s Ball.
Yetabiddwako abantu bangi ddala, ebitongole, n’abakulembeze abavudde mu government eyawakati.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda ategeezezza nti endwadde eno ebunye mu bantu bangi ddala, naasaba bonna abalina obuyambi okukolagana ne Nnaabagereka Fund okutaasa abakosebwa endwadde zémitwe okwetoloola eggwanga lyonna.
Kamalabyonna wa Buganda Charles peter Mayiga asabye government zámawanga agakyaakula nga Uganda okuteeka amaanyi mu tekinologiya ne sayansi akozesebwa okujjanjaba endwadde zémitwe ez’eyongera buli olukya.
Katikkiro alaze okutya olwa sayansi akyali ow’ekiboggwe akozesebwa okumegga endwadde zémitwe, neyeebaza Nnaabagereka olwÓbuyiiya bwatadde mu kaweefube ono.
Katikiro mungeri yeemu asabye abantu okufuba okukuuma obulamu nga bweeyagaza, kubanga ssinga tebukuumibwa bulungi yensibuko yÓkutabuka obwongo.
Amyuka omukubiriza wÓlukiiko lweggwanga Olukulu Thomas Bangirana Tayebwa, ategeezezza nti endwadde zémitwe zakweyongera nnyo ssinga abantu tebawa katonda budde, mungeri yeemu naavumirira nnyo abakozesa obubi emitimbagano nti beebamu ku balwaaza abantu emitwe.
Minister omubeezi owa guno naguli mu byobulamu Margret Muhanga , yebazizza Nnaabagereka olwa kaweefube gwatadde mu kutaasa bannansi abatawaanyizibwa emitwe, nayeeyama ku lwa government okumukwasizaako okuggusa ensonga eno.
Dr Christine Kieza ku lwékitongole kyénsi yonna ekyébyobulamu ki World Health Organization , ategeezezza nti obulwadde bwémitwe okwetoloola ensi yonna bweyongedde ebitundu 20%, ekintu ekyobulabe eri ensi eno.
Minister wébyobulamu ebyenjigiriza ne yafeesi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko, akakasizza nti Obwakabaka bwakukolagana bulungi ne bannamukago okulwaanyisa endwadde zémitwe, neyeebaza bonna abajjumbidde entekateeka eno nebasonda ensimbi.
Bisakiddwa: Kato Denis