Nira yasooka kulangirira omwezi guno ogwa June,2024 okukoleramu omulimu ogwo okwetoloola eggwanga lyonna, wabula kaakano egwongezzaayo okutuuka ku nkomerero ya July,2024.
Ekitongole kigamba nti eky’ensimbi bwekinaaba kigonjoddwa n’emissosso emirala, enteekateeka eyo yaakutandikirawo.
Senkulu we kitongole kino Rosemary Kisembo agambye nti mu July, akakiiko k’ebyokulonda aka Electrol Commission nako kaajja kuba kafulumizza enteekateeka eneegoberebwa mu kuteekateeka okulonda kwa bonna okwa 2026, nti era kijja kubayamba nnyo okutambulira awamu.
Agambye nti mu 2014 bwe baali bawandiisa abantu okufuna endagamuntu omulundi ogwasooka, omulimu baagukolera emyezi 4 gyokka, era basuubira nti ne ku mulundi guno lyébbanga lye bajja okugukoleramu, eri abo abazza densite zabwe obuggya, abeetaaga okutereezaamu bwiino abakwatako, naabo abeewandiisa omulundi ogusooka.
NIRA yalambika dda nti okuwebwa densite empya omuntu alina kusooka kuwayo enkadde eyamuwebwa, era abatazirina baakusasulayo akassente, so ngáte eri abo abaagala okuterezaamu ebibakwatako, NIRA yalangirira omutemwa gwa mitwalo 300,000, okuva ku mitwalo 50,000/= egibadde gisasulwa.#