Bannamwandu mu district ye Wakiso bekokkodde embeera ey’okunyigirizibwa gyebayitamu, olw’abaana okubagobaganya mu maka nekuttaka , saako ekitongole ekiramuzi , police n’abakulembeze abalala okufutyanka ensonga zabwe.
Abalala bagamba nti batuuka n’ okuteekebwa mu makomera nebasibwa ku misango emifumbirire n’ekigendererwa eky’okubatwalako ebyabwe.

Babadde Masuliita ku kisaawe mukukuza olunaku lwa bannamwandu olwategekeddwa ekitongole kya REDEEM INTERNATIONAL.
Akulira abalamuzi ba kkooti ento mu district ye Wakiso omulamuzi John Francis Kaggwa awadde amagezi eri abakyala abafumbo, okufuba okuwandiika bintu byebakola nabaami babwe, wamu nabaami okukola ebiraamo kikendeeze ku mivuyo egyiyitiridde ku ttaka .
Mukooyo Jolly Tonny, omukwanaganya w’ekitongole kya Redeem International ettabi lye Wakiso asabye ministry y’ekikula ky’abantu ne district y’e Wakiso okutongoza olunnaku lwabanamwandu nga bweguli kunnaku endala .

Olunaku luno olwa bannamwandu lukuzibwa buli nga 23 June.
Omumyuka RDC we Makindye Ssabagabo Kobusingye Vickie Katongole asabye bannamwandu abakyayagala okuddamu okufumbirwa, obutaleeta basajja mu maka agalimu abaana kyagamba nti kiviriddeko ettemu lingi mu ggwanga.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo