Abayizi 716 bebatikkiddwa nebaweebwa amabaluwa mu masomo ag’enjawulo, mu matikkira ga Muteesa I Royal University ag’omulundi ogwe 12.
Abatikkiddwa kuliko abawala 454 nga bakola ebitundu 63%, ate abalenzi babadde 262 byebitundu 37%.
Amatikkira gakulembeddwamu Omulamuzi wa kooti y’ensi yonna Julia Ssebutinde Chancellor wa University eno, ate Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’abadde omugenyi ow’enjawulo.
Prof. Kakembo Vincent Vice Chancellor wa Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University ayanjudde abayizi abakize ku banaabwe okukola obulungi, okuli Nakafeero Recheal, Nambula Harriet ne Magembe Jude Ronald.
Ayanjudde n’abasomesa abakize ku bannaabwe mu Muteesa 1 Royal University: Mw. Mulondo, Eng. Mbasanze
Sarah ne Mw. Birende Jamilu
Ku matikkira gano wasoseewo omukolo ogw’okutuuza Prof.Kakembo Vincent ku kisanja eky’okubiri kya myaka 5. Ekisooka kyagwako mu November, 2024.