Ssetendekero y’Obwakabaka Muteesa I Royal University kyaddaaki efunye Charter gyebadde erindiridde okumala ebbanga.
University Charter kyekiwandiiko ekyoku ntikko ekitongole ekirondoola amatendekero agawaggulu ki National Council for Higher Education gyekiwa University etuukirizza ebisaanyizo.
Okusinziira ku tteeka erifuga amatendekero agawaggulu erya Universities and Other Tertiary Institutions Act, Charter eraga obukakakfu nti settendekero ebeera etuukiriza ebisanyizo byonna ebyetaagisa munjigiriza ya University, era ng’eri ku mutendera gwe gumu ne University za government.
Ekiwandiiko ekikakasa Charter mu Uganda tewali muntu mulala akisaako mukono okugyako omukulembeze w’eggwanga, era ekya Muteesa I Royal University, President Yoweri Kaguta Museveni yakitaddeko omukono nga 11 March, 2024.
Muteesa I Royal University yatandikibwawo mu 2007 ku mulembe gw’Owek.John Chrysestom Muyingo, bweyali akyali minister wa Buganda Ow’ebyenjigiriza.
Muteesa I Royal University yatandikira awaali Masaka Technical Institute edda eyali Buganda Kingdom Technical College ku kasozi Kirumba e Masaka.
Oluvanyuma University yagaziwa nefuna ettabi e Kakeeka e Mengo mu Kampala, era erina n’ekifo ekirala e Mubende mu Saza lya Ssabasajja erye Buweekula.
Bukya nga Ssetendekero ono eyabbulwa mu Ssekabaka Muteesa Omubereberye atandikibwawo, yakatikkira abayizi emirundi 11.
Bisakiddwa: Lukyamuzi Joseph