Minister omubeezi ow’ensonga ze Kalamoja Agnes Nandutu kyadaaki yetutte ku kitebe kya police e Kibuli, yennyonyoleko ku bigambibwa nti yoomu ku ba minister abekomya amaabati agaalina okuweebwa abantu be Kalamoja abawejjere.
Police yasoose kutegeeza nti minister Nandutu yamuwandiikira wiiki ewedde agende yenyonyoleko wabula baakanze kumulinda nga talabika, bwetyo nemulabula nti yabadde eyolekedde okukozesa ekkubo eddala emuyigge yonna gyali.
Wabaddewo n’amawulire agabadde gasoose okuyitingana nti minister Nandutu yabadde amaze okufuluma eggwanga ng’ayitira e Busia neyesogga Kenya.
Minister Nandutu yetutte ku police e Kibuli ku ssaawa nga 4 ez’okumakya era gy’akyakuumirwa, n’oluvannyuma gy’asuubirwa okuggibwa asimbibwe mu kooti ewozesa abalyake n’abakenuzi.
Mu kiseera kino ba minister 2 bebakasimbibwa mu kooti ku kwekomya amabaati ge Kalamoja, okuli omubeezi ow’okuteekerateeker eggwanga Amos Lugoloobi ali ku alimanda e Luzira, ne minister w’ensonga ze Kalamoja Mary Gorret Kitutu eyayimbuddwa ku kakalu ka kooti.
Ba minister abalala abali ku lukalala lw’abagambibwa okufuna ku mabaati ge Kalamoja kuliko omumyuka wa president Jesca Alupo, sipiika wa parliament Anita Among, Nampala wa government Denis Obua, ow’ebyensimbi Kasaija, n’abalala .
#