Munnankyukakyuka Samuel Lubega Mukaaku awonye okusindikibwa mu kkomera bwabadde alabiseeko ku kkooti ya Buganda Road ku musango gw’okukuma omuliro mu bantu, ogumuvunaanibwa ne munnakibiina kya FDC Rtd Col. Dr. Kiiza Besigye.
Kkooti ya Buganda road gyebuvuddeko yayisa ekibaluwa amulabako amukwate eri Mukaaku oluvannyuma lw’obutalabikako mu kkooti enfunda eziwera okuwulira omusango gwe.
Wabula Mukaaku olulabise mu kkooti, munnamateeka wa government Ivan Kyazze kwekusaba nti akakalu ka Mukaaku kasazibwemu asindikibwe mu kabulamuliro olw’okuziimula ebiragiro bya kkooti.
Mukaaku yegayiriidde kkooti obutamusiba bwategeezezza nti abadde mu America ngáfuna bujjanjabi ku kirwadde kya Pressure ekibadde kimubala embiriizi.
Aleese ebbaluwa yábasawo mu America gyabadde ku ndiri era wano omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Nankya Winnie kwekukkiriza nti ensonga ye ebadde ya ssimba bwatyo kwekumusonyiwa.
Mu ngeri yeemu kkooti eyisizza ekibaluwa ekiragira Dr. Besigye okulabiakako nga 3rd November omusango gwabwe guwulirwe.
Mu June w’omwaka 2022 Besigye ne Mukaaku baakwatibwa Police mu masekkati ga Kampala bwebaali bawakanya eky’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye nga government yefudde kyesirikidde.
Baaggulwako omusango gw’okukuma omuliro mu bantu gwebegaana era nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam