Ssaabasajja Kabaka Empologoma Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okwettanira enkozesa ya tekinologiya mu mirimu egyenjawulo n’okunnyikiza Bulungibwansi mu Buganda ng’erimu ku makubo agazza Buganda ku Ntikko.
Obubaka bwa Nnyininsi eri Obuganda abubaweeredde ku lunaku lwa Bulungibwansi, gavumenti ezebitundu n’Ameefuga ga Buganda olukuzibwa buli nga 08 October, ng’olwomwaka guno 2025 lukuziddwa ku gombolola e Busukuma mu Ssaza Kyaddondo.
Olunaku luno lwassibwawo okujjukira olunaku government ya Bungereza lweyaddiza Buganda amefuga gaayo nga 08 October,1962.
Obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga,era ng’alagidde Obukulembeze bw’Ebitundu bwongere okunywezebwa.
Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubakabwe eri abantu ba Kabaka, asabye enkola ya Bulungibwansi ebeere ekikubagizo ky’Okutumbula Ebyobulamu n’Obuyonjo mu Bantu ba Kabaka okwetoloola Buganda, okuviira ddala mu Maka.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yebazizza ba Ssekabaka abatandikawo enkola ya Bulungibwansi era eyali ekyokulabirako, akabonero n’Obugunjufu bakyeeruppe kebasanga mu baweereza b’Obwakabaka.
Kamalabyonna era ajjukizza Ministry ya gavumenti ezebitundu okunyweeza enkolagana wakati w’Abaami ba Ssaabasajja okutandikira ku Batongole, olwo emirimu gya Ssaabasajja giggumire.

Minister wa government ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki ,asabye Abaami ba Kabaka okutambulira ku nnambika eyaweebwa mu nzirukanya y’Emirimu , baleme kukola byabwe.
Minister wa Ssaabasajja owa Bulungibwansi, Obutondebwensi n’Ekikula ky’Abantu Owek Mariam Mayanja, asabye abavubuka okunnyikiza enkola ya Bulungibwansi ow’Omuggundu, omuli n’Okunnyikiza Okusimba Emiti n’Ekibira Kya Kabaka.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo Kaggo Ahmad Magandaazi Matovu,ayogedde ku ntekateeka essaza gyeririna eyenkulaakulana, omuli Okuzimba essomero lya Muteesa II Kyaddondo , okussa mu nkola eKiragiro kya Ssaabasajja Kabaka ekyokusitula ebyenjigiriza mu Masaza.

Essaza Kyaddondo liweereddwa Ebbaluwa erisiima olw’okuwangula amasaza gonna mu buweereza, Engabo n’Obukadde 5, ate essaza Ssingo eyakwata ekyokubiri neriweebwa Obukadde 3, olwo Buweekula eyakwaata ekyokusatu neefuna Obukadde 2.
Mungeri eyenjawulo Gombolola Makindye Mutuba III eyanywa akendo mu gombolola zonna ewangudde akakadde kamu n’ekitundu, gombolola ya Ssabawaali Gombe akakadde kamu, ate Ssaabagabo Kakindu emitwalo ataano.
Omukolo guno gwetabiddwako abalangira n’Abambejja, ba minister ba Kabaka, eyaliko Omumyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi, Abaami b’Amasaza ,abamagombolola ,Abatongole, ababaka ba Parliament n’Abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis












