Kizito George William Ow’emmamba Kakoboza abeera Qatar, yaawangudde Entanda Diaspora mu lumeggana olubadde olwakaasammeeme, nga lubadde luweerezebwa butereevu ku CBS FM 88.8 ne Cosnnect radio mu Bungereza.
Kizito afunye obubonero 18, awangudde banne okubadde Nanteza Prossy ow’effumbe awangaalira e Saudi Arabia afunye obubonero 10, addiriddwa Matovu Yiga Gerald ow’engabi Ensamba afunye obubonero 09 abeera mu United Arab Emirates.
Entanda Diaspora yetabwamu abantu ba Beene ababeera emitala wa Mayanja, ng’ebayamba okusigala nga batambulira ku mirandira gy’obuwangwa bwabwe mu Buganda yadde nga bali bunaayira.
Omuwanguzi w’Entanda ya Buganda Diaspora aweebwa ettaka era nga alikwasirizibwa mu lubiri lwa Beene mu Nkuuka ya CBS ebeerawo nga 31 Ntenvu.
Entanda ya kuno omuva Omuzira mu baazira etandika ku bbalaza nga 7 October, 2024, yakubeerawo okuva ku monday okutuuka ku Friday, ku CBS FM 88.8, ng’mawulire g’essaawa ssatu gawedde.