Ennyanja Kijjanabalola ezzeemu okuwaguza
neziba ekkubo eriva e Kibaale okudda eRakai,naddala mu kitundu ky’e Byakabanda.
Kansala akiikirira egombolola ye Byakabanda Ssebalinde Umar agambye nti abalimu bakoseddwa nnyo, olw’ebirime byabwe okuba nga tebakyabisaza kubituusa mu katale.
Agambye nti kati olugendo olusoboka lweruva e Kibaale okuyita e Ssanje okutuuka e Rakai.
RDC we Rakai Kambugu Robert Ssenyonga alabudde abantu obutetantala kusala mazzi agasazeemu enguudo, nasaba n’abazadde obutakkiriza bayizi kuyita mu bitundu ebyasaliddwako ennyanja.
Mu bbanga lya myezi etaano egiyise, ennyanja eno Kijjanabalola yabooga nezingako ebyalo ebiwerako, neereka abantu nga babundabunda.
Bisakiddwa: Mike Zizinga