Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority KCCA, kizizza obuyinza eri kooti z’amagombolola mu Kampala, obwali bwajibwawo mu mwaka gwa 2011.
Kooti zino zaali zaggibwawo ku mutendera gw’amaggombolola mu Kampala mu mwaka gwa 2011, olwemivuyo, obulyi bwenguzi, obulyake n`obukumpanya obwali bwetobese mu nkola y’emirimu mu kooti zino, era obuyinza bwonna obw’okusala emisango mu Kampala nebuddizibwa mu kooti ya City hall.
Rehema Nassozi Ssebbowa omulamuzi wa kooti ya City hall mu Kampala, bwabadde aggalawo omusomo ogwetabiddwamu ba Ssentebe ba kooti z’amaggombolola eziddiziddwa obuyinza, abakalatidde okwewala obuli bwenguzi n`okutuula ku misango.
Abasabye okwewala okukozesa olulimi oluzibu nga bawozesa emisango, nti kubanga bagenda kukolera mu bantu babuligyo.
Abamu ku bassentebe ba kooti zino nga bakulembeddwamu Ssentebe wa kooti ye Lubaga Ddamba Kisuze Ismail, basanyukidde eky`okuzaawo kooti zino, era nebasuubiza okusala emisango nga besigamye ku mazima n`obwenkanya.
Kooti zino eziri ku mutendera gw’aaggombolola mu Kampala, ziweereddwa obuvunanyizibwa okuwuliriiza n`okusala emisango Omuli egyakalogo kalenzi, Enkayana mu bufumbo bw`obuwangwa, amabanja agatasuka bukadde 2, nemirala.
Bisakiddwa : Musisi John