Paul Kato Lubwama ayogeddwako nnyo ng’omuntu abadde n’ebitone ebyenjawulo ebitasaangikasaangika.
Abadde munnakatemba, omutendesi, omuzannyi era omuwandiisi w’emizannyo, omuyimbi era omuwandiisi w’ennyimba.
Ekitone kya Katemba n’okuyimba abangi kyebabadde basinga okumanya, era emirimu gye kwegibadde gitambulira.
Wabula abamu ku baakula ne Kato Lubwama ku Martin road mu Kampala gyeyabeeranga ne nnyina Nnaalongo, bagamba nti Kato yali musambi wa mupiira mulungi ddala.
Okusinziira ku Ssenkulu w’ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga ekya FUFA Edgar Watson, agamba nti Kato Lubwama weyasomera secondary ku Old Kampala S.S yali musambi wa mupiira mulungi era yazannyiranga mu lugoba oluteebi.
Watson agamba nti ne mulongo munne Wasswa nti naye yali mulungi nnyo mu mupiira, wabula teyafuna mukisa guzannyirako Club yonna.
Wasswa yeyasooka okubuuka era naye yagalamizibwa Nkozi mu Mawokota, era ewagenda okuziikibwa Paul Kato Lubwama ku lwokusatu lwa wiiki ejja nga 14 June,2023.
Abbey Mukiibi Nkaaga akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS era abadde nfanfe wa Kato Lubwama agambye nti Kato Lubwama abadde musajja ow’ebitone ebingi, omuyiiya ate ng’alemera ku nsonga gyába aliko
Agambye nti Kato w’afiiridde ng’ebintu byonna byeyagamba okukola okuva mu buvubuka bwe ng’abikoze.
“Kato Lubwama yagamba ajjakuzimba Theatre yagizimba, band yagikola, TV yakikola, ekyuma ky’obuwunga yakikola,Kato abadde alemera ku nsonga mpozzi nga ggwe obeera tomutegedde” Abby Mukiibi
Kato Lubwama yalaama abayimbi okumuyimbira ku lumbe lwe, era basuze bayimba nga bakulembeddwamu Eddy Kenzo, Mamuli Katumba n’abalala.
Paul Kato Lubwama yafiiridde ku myaka 52 egy’obukulu yazaalibwa 16 August,1970.#