Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde abavubuka abegwanyiza ebyobufuzi okusooka okuweereza Ssaabasajja, olwo batuuke mu bifo byebetaaga nga bakuguse, mu kifo kyÓkululunkanira ebyenfuna ebiggira ku byobufuzi.
Katikkiro abadde ku mukolo olukiiko lwÁbavubuka mu Buganda kwebukyusirizza obukulembeze nerwanjula abakulembeze abaggya, gubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro alungamizza nti Omuvubuka anaagezaako okwesogga ebyobufuzi nga teyeteeseteese kimala wakufiiriza eggwanga emikisa nkumu.
Katikkiro asabye abavubuka okunywerera ku Ssaabasajja Kabaka nÓkumanya ensonga za Buganda Ssemasonga ettaano eza Buganda, nÓkukakasa nti ekitiibwa kyÉmpologoma kikuumibwa butiribiri.
Katikkiro alabudde abavubuka ku biragala byebanywa olutatadde nebafuukira ensi ekizibu, nÓkuzza emisango omuli egya nnaggomola.
Omulangira David Kintu Wassajja nga ye muyima wa Buganda Youth council asabye Abavubuka okukuuma ekitiibwa kyÉmpologoma , nga bweyabakwasa Omulembegwe Omutebi.
Minister wÁbavubuka ebyemizannyo nÉbitone Owek Sserwanga Ssalongo agambye nti olukiiko luno lwÓmulundi guno lufunye abakiise ebenjawulo, abagenda okulukiikirira ku mitendera gyonna.
Ssentebe wÓlukiiko lwÁbavubuka mu Buganda omuwummuze Baker Moses Ssejjengo, alabudde abakulembeze ku butego obutegebwa bannakigwanyizi,naabasaba okubeera abegendereza baleme kubugwamu.
Ssentebe wÓlukiiko lwÁbavubuka ba Buganda omugya Derick Kavuma mu kukuba ebirayiro , yeeyamye okukulembera banne nÓbuvumu, kko nékitiibwa eri Namulondo.
Omukolo guno gwetabyeko abakulembeze b’abavubuka mu Bukama bwa Tooro nÓbwakyabazinga bwa Busoga,bagambye nti olwa leero lugguddewo essuula empya mu nkolagana eyannamaddala, egendereddwaamu okunyweeza Obumu.
Kavuma Derick Ssentebe omuggya agenda kumyuukibwa William Kijjambu, kkulumba Nasif mukiise mu Bika, Kayiwa Godfrey akiikirira Abaliko Obulemu,Kakeeto Hannington mukubiriza wÓlukiiko, Omuwandiisi Nantamu Lazia, Omuwanika Kaggwa Recon, Wilberforce Tebusweeke wa Byabuwangwa, Lubega Musa wa Tekinologiya, Ebyobulamu ne Bulungibwansi Kabiito Andrew, Nagawa Florence wa bitone nÉmizannyo.
Mu balala kuliko Victoria Namubiru, Ebyenjigiriza Wanji Gerald, Omuwabuzi Ssekkadde Julius Paul, Omwoogezi nÁmawulire Lubyaayi Adrian, Sharif Luliika ye mumyuuka wÓmukubiriza wÓlukiiko.
Bisakiddwa: Kato Denis