Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza obuweereza bweyaliko Katikkiro wa Buganda Omugenzi Paul Nelly Kavuma , eyaweereza Obwakabaka mu kiseera ekyali ekizibu ddala, kyokka naagumira okusomooza omwali ebigambo n’Okuwakanyizibwa.
Abadde atongoza ekitabo ekituumiddwa Crisis in Buganda 1953-1955 ekyaleka kiwandiikiddwa Omugenzi Owek Paul Nelly Kavuma.
Akitongolezza ku mukolo ogutegekeddwa mu Butikkiro e Mengo.
Katikkiro Mayiga agambye nti Owek.Paul Kavuma yakola ky’amaanyi okuteeka ebyafaayo mu buwandiike, naasaba abantu ba Kabaka bemanyiize nnyo okuwandiika n’Okusoma ebitabo, okumanya ebyafaayo.
Katikkiro mungeri eyenjawulo atenderezza abakulembeze Ssaabasajja Kabaka bazze asiima nabawa obwami, okubeera abavumu era abamalirivu ekisukkiridde okutuusa Buganda ku Ntikko, naasaba abaliddawo babalabireko.
Omutaka Keeya Ttendo Namuyimba II omukulu w’Ekika ky’Engo, ajjukizza Abazzukulu bonna abalina okwagala eri Okuwandiika ebitabo, okufuba okubiteeka mu Lulimi Oluganda, kyanguyize abatamanyi Lungereza okumanya ebyaliwo neebiriwo.
Dr Jane Samalie Kavuma Kayonga, Omu ku Baana b’Omugenzi eyali Katikkiro Paul Nelly Kavuma era nga yaakulembeddemu okufulumya ekitabo kino, agambye nti kitaabwe alijjukirwanga olw’Ebirungi byeyakolera Obwakabaka, naasaba abaagala okumanya ebyafaayo bakyettanire.
Omukolo gw’Okutongoza ekitabo Crisis in Buganda 1953-1955 gwetabiddwaako Abalangira okubadde Jjajja w’Obuyisiraamu Dr Kasimu Nakibinge, Omulangira David Kintu Wassajja, Nnaalinnya Lubuga Dr Agnes Nabaloga, Nnaalinnya Dorothy Nassolo, Katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwagga Mugumbule, Ba minister b’Obwakabaka, wamu n’Abantu abebuzibwako ensonga ezenjawulo mu Buganda.
Bisakiddwa: Kato Denis