Obwakabaka bwa Buganda busabye abalungamya b’Emikolo egy’Olwatu n’Egitali, okuba abasaale mu kunyweeza Ennono,Olulimi n’Obuwangwa bwa Buganda bireme kusaanawo.
Bw’abadde yeetabye mu kukuza Olunaku lw’Abalungamya b’Emikolo mu Buganda olukuziddwa ku gombolola ya Mutuba 4 Kawuga mu Ssaza Kyaggwe e Mukono, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nti agambye nti okuva ku Nnono ku mikolo egyenjawulo, kiviiriddeko bangi okukola ebitaliimu nsa, era nebawebuukira ddala.
“Mu Buganda tulina empisa zaffe ezitwawula ku balala kubanga Eggwanga eritalina mpisa zaalyo, obulombolombo, ennono oba obuwangwa lisaanawo.Kale musaanye okukuuma n’okutaasa ekitiibwa n’ekifaananyi kya Buganda naddala mu mikolo ng’okwanjula n’okwabya olumbe” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro mungeri yeemu alabudde abatandiikirizza omuze gw’Okuyingiza bannabyaabufuzi mu nteekateeka y’Obuwangwa n’Ennono, nti basaanye bakikomye.
Minister w’Ebyobuwangwa ,Ennono , Embiri Amasiro n’Ebyokwerinda mu Bwakabaka Owek Dr Anthony Wamala, alabudde abalungamya b’Emikolo mu Bwakabaka ku bannakigwanyizi abeyongedde obungi, kyokka naasaba abazadde omusibuka emikolo Okukomya okweswaaza nga bakkiriza Ebikolwa ebitasaana.
Omwaami wa Ssaabasajja akulembera essaza Kyaggwe Ssekiboobo Vincent Matovu, ategeezezza Kamalabyonna nti abantu ba Kabaka mu Kyaggwe bajjumbize era bawulize eri enteekateeka z’Obwakabaka zonna, wadde bakyalina okusomoozebwa kw’Entalo ezitaggwa ku ttaka.
Ssentebe w’Abalungamya b’Emikolo mu Buganda Ismail Kaggya, ategeezezza Kamalabyonna nti baliko byebatuseeko ebiwerako omuli okulwaanyisa emize egittattana emikolo gy’Okwanjula n’Okwanjulwa,omuli n’Okuwa ekitiibwa Ekkanzu ne Gomesi.
Kaggya mungeri yeemu ategeezezza nti bamalirizza okukwatagana n’Abasunsuzi b’ennyimba abenjawulo mu Uganda, okukomya okuzannya obutambi bw’ennyimba ezibadde zikubwa ku mikolo gy’Obuwangwa nga tezituukiridde, ekibadde kiwebuula ekitiibwa ky’Emikolo.
Omwami g’Egombolola Mutuba 4 Kawuga Isaac Newton Musoke ategeezezza nti mu ssaza Kyaggwe basobodde okukuuma Obumu n’Okuwangana amagezi ku nkola y’Emirimu gya Ssaabasajja, omuli n’Okukunga abantube okwettanira okulima.
Ku mukolo gwegumu kubaddeko empaka z’Okuvuganya mu Lulimi Oluganda.
Ssebalijja Joseph okuva e Buddu amezze banne afunye obugoba 38 nawangula Kapyaata wa Pikipiki okuva mu Simba Automotive, n’Ebirabo ebirala okuva mu Roseform, nga amezze banne omubadde Ssenkungu Rajab, Male Paul Ssettuba,Kamoga Kasujja kaaliwano, Miyingo Misearch.
Bisakiddwa: Kato Denis