Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter asabye Abavubuka abalina omwooyo gwa Buganda ogutafa mu matendekero agenjawulo Obutasuulawo misomo era beetegekere okulya ensi eno, nga besimbawo ku bifo by’obukulembeze ebyenjawulo.
Katikkiro abadde yeetabye ku mukolo gw’Okulayisa abakulembeze ba Baganda Nkobazambogo ku mutendera gw’Eggwanga mu Bulange e Mengo.
Agambye nti Okusoma mu bavubuka ba Buganda kwakwongera okuggula emikisa gy’Emirimu mu bisaawe ebyenjawulo.
Katikkiro mungeri yeemu alabudde abavubuka ku Bantu ababatega ensimbi n’Ekigendererwa ekyokubaggya ku mulamwa ogwokulwanirira Obwakabaka.
Minister w’Abavubuka emizannyo n’Ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, asabye buli muvubuka afuna Omukisa okuweereza Ssaabasajja Kabaka okukola ennyo nga teyeebalira,Olwo emirimu gya Beene gitambule bulungi.
President omuggya ow’ekibiina ekigatta bannamateeka ki ‘Uganda Law Society’ Isaac Ssemakadde yeyamye okubeera omuwulize eri Nnamulondo, era n’asuubiza okutambula n’Obwakabaka mu nteekateeka zonna naddala ezikwata ku nsonga z’abavubuka.
Ategeezezza nti wakulwanirira eddembe ly’obuntu eri buli buntu anaaba aryetaaze.
Kakeeto Hanington Sseremba Ssentebe wa Nkobazambogo Omuwummuze, ategeezezza nti mu bimu ku bituukiddwaako ebyenkizo mubaddemu okubugirizanga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwaabadde asiima okulabikako eri Obuganda.
Ssentebe mungeri yeemu ategeezezza nti nga bayita mu bukulembeze bwa minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’Ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga,basobodde okutongoza enteekateeka etuumiddwa Ettu, mwebagenda okuyita nga bannazambogo okusonda ensimbi ezigenda okutambuza Obwakabaka, n’Okulwaanyisa abalwanyisa Obwakabaka
Ssentebe wa Nkobazambogo mu Uganda omugya Adrian Lubyaayi, akubye ebirayiro okukulembera banne , abasabye obutalinda muntu yenna mu lutalo lw’Okutaasa n’Okulwanirira Namulondo.
Ssentebe w’Abavubuka mu Bwakabaka Baker Ssejjengo ,asabye Abavubuka abalinako kyebalina omuli ettaka babeeko ebyamakulu bwebakolerako, olwo bezimbe, oba okulipangisa wonna gyebabeera basobodde.
Banna Nkobazambogo era bakiise embuga n’Ettu lya bukadde 4.6, okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.
Bisakiddwa: Kato Denis