Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde ekibiina ekiri mu Buyinza ekya NRM amagezi ,okukolagana n’obwakabaka okukubaganya ebirowoozo ku bukulembeze obuyinza okukyusa ensi eno etuuke ku nkulaakulana y’amawanga amalala.
Katikkiro abadde akyazizza abakulembeze okuva mu kibiina kya NRM ekiri mu buyinza mu nsisinkano ebadde mu Bulange e Mengo.
Akiggumizza nti enfuga ey’okugabanya Obuyinza eya Federo ly’eddagala lya Uganda.
Katikkiro asabye abali mu buyinza okumanya ebizibu by’abantu n’okulwanyisa ebikolwa ebyobumenyi bw’amateeka, omuli okutulugunya n’okugoba abantu ku ttaka n’ekityoboola ddembe ly’abakyala n’abaana ekisukkiridde, mungeri yeemu naasaba abali mu Buyinza okuwagira entekateeka z’obwakabaka ez’enkulaakulana.
Rosemary Sseninde Nansuubuga nga ye ssaabakunzi wa NRM, yeebazizza Obwakabaka olwebyo ebituukiddwako nga bitwala Buganda ne Uganda mu maaso, naddala mu byenjigiriza, ebyobulimin’obulunzi, ebyobulamu n’enkulaakulana y’abantu.
Emmanuel Ddombo nga yavunaanyizibwa ku byempuliziganya mu kibiina kya NRM yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okulabira ewala nateekawo emikutu gy’amawulire egy’Obwakabaka, egiyambye ennyo okubangula abantu ba Buganda ne Uganda yonna.
Bisakiddwa: Kato Denis