Ensimbi obukadde bwa shs 250 ezirina okuddaabiriza enguudo mu district eye Kalangala zikyalemedde ku account ya district, olw’abakulembeze okulemererwa okumanya engeri gyezirina okusaasaanyizibwamu.
Ensimbi zino obukadde 250, zezimu ku nsimbi akawumbi akalamba Government gyebuvuddeko zeyayisa, neziweerezebwa mu district ne municipalities okudaabiriza enguudo zaazo eziri mu mbeera embi.
Akulira eby’enguudo ku lukiiko lwa district ye Kalangala Giribe Herman agambye nti balinze parliament okuyisa enkola gyebalina okugoberera okugoberera okusaasaanya ensimbi ezo ezaabaweerezebwa.
Agambye nti ekibennyamiza kwekuba nti balina ensimbi z’enguudo ezitudde ku account, kyokka nga balina enguudo eziri obubi ezetaaga okukolebwako.
Awadde eky’okulabirako eky’oluguudo Kaazi- malanga lwagambye nti lumaze ebbanga ddene nga terukolebwako oluvannyuma lw’okusalibwako ennyanja.
Bisakiddwa: David Ssekayinga