Nga Obuganda bwetegekera Amazaalibwa ga Nyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’Emyaka 70 nga 13 April, 2025, ebyafaayo bingi ebyeyolekera mu myaka gino, era Omutanda yasiima n’abbula ekizimbe mu mannya ga Maama we Namasole Sarah Nalule Kisosonkole.
Ekizimbe kino Beene yasiima n’akiwa essomero lya Lubiri High Buloba campus nga 13 April, 2017, kyeyabbulamu amannya ga Maama we Namasole Sarah Nalule.
Namasole Sarah Nalule yazaala Kabaka nga 13 April, 1955 mu ddwaliro e Mulago.

Ebyafaayo biraga nti wadde Ssaabasajja Kabaka yasomera mu masomero agenjawulo awataali kusomoozebwa kwa bisale bya Ssomero, Maama Namasole Sarah Nalule teyakoowa kumuzzaamu Maanyi omwali n’Okumuluηamya nga mu by’okusoma.
Ssebina Charles nga ye Mukulu w’Essomero lya Lubiri High school Buloba campus, agambye nti basiimu eri Ssaabasajja Kabaka olw’Okwagala ebyenjigiriza ebiwa essuubi, n’Okwaagala ennyo Abaana ba Buganda ne Uganda yonna Okusoma.
Amazaalibwa g’Omutanda ag’emyaka 70, galiko ebikujjuko ebiwerera ddala omuli okutongoza ekizimbe ekipya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii ku ssomero lya St Peters SS Bombo Kalule, okugabira Abaami b’Amasaza Tractor okusitula ebyobulimi, Ebyoto ku Mbuga z’Amasaza n’Amagomboola.
Kuliko Emisinde mubuna byalo egiribaawo nga 6 April, 2025 mu Lubiri e Mengo, nga Omujoozi gw’Emisinde gutundibwa 20,000/=.