Club y’omuzannyo gw’ensero eyabakazi eya JKL Lady Dolphins bebannantameggwa ba liigi ya Women National Basketball bakubye club ya KIU Rangers obugoba 68-50.
Omuzannyo ogugaddewo liigi eno gubadde mu kisaawe e Lugogo mu Kampala era JKL Lady Dolphins ewangudde liigi eno omulundi gwayo ogw’okusatu.
Baasooka okuwangula liigi eno mu 2018 nebagyeddiza mu 2019, ne 2023.
Okufuna omuwanguzi ttiimu zonna zikwatagana emirundi 7, era kuno JKL Lady Dolphins ewanguddeko emizannyo 4 ate KIU Rangers ewanguddeko omuzannyo gumu, nga n’olwekyo emizannyo emirala 2 egibadde gikyabulayo gibadde tegikyalina kigendererwa.
Oluvanyuma lwa JKL Lady Dolphins okuwangula liigi eno, kati egenda kuzaako okukiikirira Uganda mu mpaka za FIBA Zone Five Women’s Championships ezigenda okubeera mu kibuga Kigali ekya Rwanda okuva nga 28 October okutuuka nga 04 November omwaka guno 2023.
Okuvuganya ku liigi ya babinywera ey’ensero mu basajja kukyagenda mu maaso, era City Oilers ne KIU Titans be bali mu kulwanira ekikopo, nga mu muzannyo ogw’okutaano oguzannyiddwa e Lugogo, KIU Titans ekubye City Oilers obugoba 65-62.
Kati bano basigazza okwesisinkana emirundi 2, era City Oilers yetaaga kuwangula omuzannyo gumu okweddiza ekikopo kino omulundi ogw’omwenda ogw’omuddiringanwa ate KIU Titans erina kuwangula mizannyo gyonna.
Ku mizannyo 5, City Oilers yakawangulako 3 ate KIU Titans yakawangulako emizannyo 2 ku mizannyo 7 egyessalira.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe