Club ya KCCA egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League mu butongole erangiridde Jackson Mayanja Miya Miya ng’omutendesi omugya owa club eno okutuuka kunkomerero ya season eno 2022/23.
Jackson Mayanja azze mu bigere bya Morley Byekwaso eyasuddewo omulimu guno oluvanyuma lwa KCCA okuwandulwa mu mpaka za Uganda Cup.
Ku mulimu guno Jackson Mayanja agenda kumyukibwa Nsanziro Sam Charles Ssenyange, Saka Mpiima nga yavunanyizibwa ku ttiimu ento, Oloya Moses mutendesi wa bakwasi ba goolo, Ayobo Felix owa dduyiro, Ivan Ssewanyana omusawo nabalala.
Mungeri yeemu KCCA erangiridde nti abatendesi abalala ebatadde bagende banoonye ekibanja ewalala okuli Kaddu Badru Mukasa, Richard Malinga ne Walugembe Fahadie Yahaya.
Guno gugenda kubeera mulundi gwa kubiri nga Jackson Mayanja atendeka club ya KCCA, nga yasooka kubatendeka mu 2005.
Mayanja era yazzannyira club eno emirundi 2 nga yasooka mu 1987 okutuuka mu 1992 olwo n’agenda emitala wamayanja mu club ya Al Masry e Misiri ne Esperance e Tunisia wabula yakomawo mu KCCA mu 1996.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe