President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni agambye nti musanyufu olw’engeri Obwakabaka bwa Buganda gyebusituddemu embeera z’abantu ez’okweggya mu Bwavu, nga bubakubiriza okulima emwaanyi, okulunda n’okuzzaawo obwegassi.
Obubaka buno abutisse avunaanyizibwa ku by’ensimbi mu Maka g’Obwa president Jane Barekye, ku mukolo ogw’okuggulawo omwoleso gw’Obwakabaka ow’ebyobulimi ,obulunzi n’obwegassi ku kisaawe kye Kasana Luweero mu Bulemeezi.
President Museveni awagidde enkola ya Mwaanyi Terimba naawaayo obukadde bwa shs 413 ziyambeko mu kufunira abantu emwaanyi basimbe.
Ceeke agikwasizza Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.
Katikkiro bw’abadde ggulawo omwoleso guno mu Bulemeezi mu kutoongoza omwooleso guno, naasaba abavubuka okunyweeza enkumbi balime emwaanyi, mungeri yeemu naasaba abasajja okukwasizaako abakyala balime Emwaanyi.
Katikkiro mungeri yeemu awadde Abalemeezi amagezi bakomye okwekwaasa okutaagulwa entalo ezaaliwo emyaaka 30 n’Omusobyo, wabula balwaneko bakole.
Minister w’ebyobulimi ,obulunzi , obwegassi n’obutale Owek Haji Hamis Kakomo, agambye nti omwoleso guno gwongedde okuyamba abantu ba Buganda mu masaza gonna okufuna ebyokuyiga mu ,omuli n’Okubanyweereza mu Bwegassi.
Omwaami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Bulemeezi Kangaawo Omulangira Ronald Mulondo, asabye abantu ba Buganda okumanya ekyaama ky’okuzza Buganda ku ntikko,nga kwekukola nnyo buli muntu abeeko kyayingiza mu nsawo.
Ababakaba parliament abava mu Bulemeezi nga bakulembeddwamu omubaka omukyala akiikirira Luweero Brenda Nabukenya, beeyamye okukwasizaako Omwaami wa Ssaabasajja Kangaawo okubunyisa enjiri y’okukuuma ettaka.
Ssentebe wa district ye Luweero Erastus Kibirango atenderezza obumu obulimu bantu ba Kabaka mu by’enkulaakulana , naasaba abalinawo ettaka obutalisalamu plot.
Omwoleso guno gwakukomekkerezebwa ku Sunday nga 16 June,2024 era gwetabiddwako abalimi, abalunzi, abayizi b’amasomero ku mutendera gwa Primary ne Secondary,amatendekero agasomesa ebyobulimi n’obunlunzi,wamu ne bannabyanfuna.
Bisakiddwa: Kato Denis