Government ya Uganda essazeewo okuzimba ebisaawe by’omupiira ebirala ebiri ku mutindo gw’ensi yonna, okuli ekinaazimbibwa e Kakiri mu Wakiso, e Mpigi ne Lugazi nga Uganda yetegekera empaka z’o mupiira gw’ebigere eza African Cup of Nations AFCON ezigenda okubeerawo mu 2027.
Bino bijjidde nga Speaker wa Parliament, Anita Among nga yakamala okuteekawo akakiiko akakulemberwa Caommissioner wa parliament Mathias Mpuuga Nsamba okwongera okutunula ku ntegeeka ye kisaawe kye Namboole ekyakamala okudaabirizibwa nga Uganda yetegekera omupiira gwa AFCON 2027.
Omukulembeze w’e ggwanga yalagidde ekitongole kya Engineering Brigade ekya UPDF kyekibeera kikola omulimu gw’okuzimba ebisaawe bino bisobole okuggwa mu budde awatli kwekwasa nsonga zonna.
Ensonda zitegezzezza nti President Museven asuubirwa okwongera okuttaanya ku nsonga eno, bwanaaba ayogerako eri ababaka ba Parliament olunaku lwenkya nga 06 June,2024 okulaga eggwanga enteekateeka za government ez’okutumbula eby’emizaanyo.
Mu birala ebisuubirwa okwogerwako ye nteekateeka governemtn gyeyakoze n’Omulangira wa Buwabalu Sheikh Hamdan bin Mohammed bin Rashid Al Marktoum okutumbula obusuubuzi bw’a mafuta mu Uganda, era omulangira ono asuubirwa okuweebwa omudaali, Uganda bwenaana ejjukira olunaku lwa bazira baayo.
President era mu kwogera kwe okwolunaku lwenkya, asuubirwa okulaga ssente government zeyongedde mu nteekateeka ya Parish Development Model wamu ne ntekeekateeka ye Myooga, nti kubanga zino zezimu zasuubira okuyambako okulwanyisa obwavu.
President era yalagidde abakulembeze bonna okwenyigira obutereevu mu nteekateeka yokutumbula enkola zo kwekulakulanya baleme kuzirekekera bakozi b’ebyekikugu bokka kubanga kino kiviriddeko oluusi ssente okubulankanyizibwa.