Government erangiridde nti obumulumulu bwonna obubadde busibye enteekateeka y’okussa digital number plates mu bidduka buwedde, era ng’omwaka gwa 2025 wegunaggwerako, zisuubirwa okuba nga zimaze okubunyisibwa mu bidduka byonna.
Emmotoka za government 1094 zezakatekebwako digital Number plate, era nga zino zezibadde zigezesebwako okutereeza ebibadde byasigalira.
Mu kusooka government yali yasaawo omwezi guno ogwa July 2024 okuba ng’enteekateeka yonna ewedde.
Mu nteekateeka empya eyanjuddwa, mu November 2024 pikipiki empya zonna ezitundubwa zakubaako digital number plates, ate okuva nga 6 January,2025 ebidduka byonna byakuba nga bisobola okussibwako number plates eza digital.

Minister w’ebyentambula n’enguudo mu ggwanga Gen Edward Katumba Wamala, ne minister w’obutebenkevu Maj.Gen.Jim Muhwezi babadde ku media centre mu Kampala, nebategeeza nti enteekateeka ya digital plates yakuyamba okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obukolebwa nga bakozesa ebidduka, n’abamenya amateeka gokunguudo.
Bisakiddwa: Musisi John