Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission, mu butongole kiddizza CBS FM radio license egikkiriza okuweereza emirimu gyayo, oluvannyuma lw’emyaka 14.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2009 Cbs fm government yagyijja ku mayengo g’ebyempuliziganya, era n’emala emyezi 13 n’ennaku 13 nga tenadda ku mpewo, ekyatuumibwa “thirteen thirteen”.
Okuva olwo ebadde yakkirizibwa okuddamu okuweereza, wabula nga license ejikkiriza okukola mu butongole ebadde tegyiweebwanga.
Minister w’amawuliire n`okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi, bw’abadde akwasa Cbs fm License yaayo, ajisabye okwongera okukwata omumuli gw’ebyempuliziganya era eky`okulabirako ekirungi eri emikutu gy’amawulire emirala mu ggwanga.
Ssenkulu w’ekitongole ekiruŋŋamya eby’empuliziganya mu ggwanga ekya Uganda Communications Commission UCC, George William Nyombi Thembo, yebazizza Cbs olw`okuweereza n`obukugu obw’ekika ekyawaggulu,wadde ng’ebadde ekola terina license.
Ssenkulu wa Cbs Omukungu Micheal Kawooya Mwebe, agambye nti Cbs fm bweyagyibwa ku mpewo mu 2009, emyaka 14, eyise mu Mayengo agatagambika.
Agamba nti mu mbeera eno Cbs fm yasalawo obuteekubagiza, era n’egenda mu maaso n`okuteekeesa mu nkola ekiragiro kya Beene eky`okulakulanya n’okukyusa embeera zaabwe.
Agambye nti Cbs yayongera amaanyi mu program y’Entanda ya Buganda, etumbudde Oluganda ate nga bwekulakulanya abagyetabamu.
Ayogedde ne ku program endala abavubuka mwebakontanira n’ebawangula ebirabo nekavu w’ensimbi.
Mu ngeri yeemu Omuk.Kawooya Mwebe ayozaayozezza Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, olw’okuweza emyaka 31 ng`atudde ku Nnaamulondo ya bajajjabe, era nga CBS yeemu ku bibala.
Asuubizza nti Cbs egenda kwongera okuweereza eggwanga nga teyekubidde ludda, okugenda mu maaso ne program zaayo eziwa abantu essuubi, ezibakulaakulanya, ezibayigiriza n`okubamanyisa, era ezibasanyusa.
Naye ng`essira yaakusinga kulissa ku program ezikulaakulanya n`okukyusa embeera z’abantu, nga Ssaabasajja Kabaka bweyalagira.
CBS FM yagenda ku mpeewo nga 22 June,1996, gy’emyaka 28 gyeyakamala mu nsiike y’ebyempuliziganya.
Bisakiddwa: Musisi John