Omusawo w’ekinnansi Magombe John myaka 50, omutuuze w’e Kazinga Masajja-Kibira B mu gombolola ya Makindye Ssabagabo asindikiddwa munkomyo yebakeyo emyaka 7, oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okusangibwa n’obuwanga bw’abantu 3 n’omusaayi.
Magombe yakwatibwa nga 03 February, 2023, oluvanyuma lw’abebyokwerinda okutemezebwako nti omusajja ono yali akukulidde ebintu ebyo mu ssabo lye.
Okuva olwo Magombe abadde ku alimanda, gyeyavudde n’asaba omulamuzi amuwe ekibonerezo ekisaamusaamu, era n’akkiriza nti obuwanga n’omusaayi byebaamukwata nabyo yali yabigula ku musawo munne, okubikozesa mu mirimu gye egy’obusawuzi.
Omulamuzi Margret Mutonyi agambye nti abasawo b’ekinnansi abakkiririza mu kusawula nga bakozesa ebitundu by’abantu basaanye okukwatibwako omukono ogw’ekyuma, era nti bebenyigira mu bikolwa eby’okusaddaaka abantu saako okulinnyirira eddembe ly’abafu.
Omulamuzi alagidde Magombe John yebake mu nkomyo okumala emyaka 5 n’emyezi 8 n’ennaku 4, , nti kubanga ku alimanda amazeeyo ebbanga erisukka mu mwaka omulamba.
Bisakiddwa: Betty Zziwa