Obwakabaka bwa Buganda bwakuteeka essira mu kusikiriza abalambuzi okuva munda mu ggwanga n’ebweru wa Uganda , ng’omu ku kaweefube w’okutumbula ekifaananyi kya Buganda.
Mu ntekateeka eno Obwakabaka bwaakukozesa emitimbagano gyaabwo okutunda ekifaananyi ky’Ebyobulambuzi ebweru wa Buganda ne Uganda ne mu nsi yonna.
Mulimu ebifo eby’enkizo omuli Embiri, Ensozi, Amasiro ,ebibumbe by’Ebika ,Ennyanja ya Kabaka ,emmere n’ennyambala, obuwangwa n’Ennono, okubyagazisa abalala nga bweguli mu bitundu byensi ebyenjawulo.
Mu Mbalirira y’Obwakabaka ey’Omwaaka gw’Ebyensimbi 2024/2025 ey’Obuwumbi 257 , Ebyobulambuzi byaakuweebwa obuwumbi 2 n’Obukadde obusukka mu 400, ekigenda okubaako ettoffaali eddene erissibwa ku nkulaakulana mu Buganda.

Omuwanika w’Obwakabaka Owek Robert Wagwa Nsibirwa, yategeeza Obuganda mu kwanjula Embalirira y’Omwaaka gw’Ebyensimbi omugya 2024/2025 nti ebifo ebisinga okubeera ebyenkizo omuli n’Amasiro ge Kasubi biri ku mutendera ogusembayo ogw’Okumalirizibwa, nga mu kiseera kino Amasiro getaaga Obwegendereza mu kugamaliriza.
Minister w’Obuwangwa , Ennono, Embiri,Amasiro n’Ebyokwerinda gyebuvuddeko, yasaba abakulu b’Ebika 7 abatannateeka bibumbe bya miziro gyabwe ku luguudo Kabakanjagala babikole, nga mu kiseera kino ebika 40 byokka byebirinako ebibumbe.
Ssenkulu w’Ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Bwakabaka ki Buganda heritage and tourism Board Omuk Albert Kasozi, agambye nti okweetaba mu myoleso gy’Ebyobulambuzi mu Africa ne munsi yonna n’Okwaagazisa abantu baakuno okwettanira Ebyobulambuzi zeezimu ku ntekateeka zebalina, wabula nga bino byakukulemberwa Okuteeka Omutindo ku byobulambuzi.
Nalulungi w’Ebyobulambuzi owa Buganda 2024/2025 Namale Kisher Ruth ,agambye nti ensimbi ezassiddwa mu byobulambuzi zaakuyambako okuggulawo ekkaddiyizo lya Buganda, n’Okukwasizaako bannalulungi okutumbula Obuwangwa n’Ennono mu Bavubuka.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Ssebuliba Julius