Mu program Entanda ya Buganda 2024 Nnantaggwa buwoomi, ku Tuesday nga 08 October, abamegganyi Kabiswa Ronald eyafunye obugoba 24 ne Nannyunja Hasfa eyafunye obugoba 18, baayiseewo okwesogga olumeggana olw’omutendera ogw’okubiri, te Kibirige Mathias eyafunye obugoba 10, yawanduse.
Biibino ebibuuzo ebyababuuziddwa:
1. Olugero: Kuno kwekwaffe, Takubuulira w’asula.
2. Ani yawandiika akatabo “Kalimagezi Omuzira? Rev Fr. FX Mbaziira.
3. Milton Obote bweyawera Obwakabaka Buganda yagisalamu district ez’enjawulo, district gyeyatuuma East Mmengo, yagiteeka Bulemeezi, ku kyalo ki? Bbombo.
4. Mu mulimu gw’okuyigga mulimu abantu abayitibwa ababwa, tuwe erinnya eddala ery’ababwa? Abagoberezi.
5. Amakulu g’ekisoko, okuba mu gw’e Busami. Kubeera mu mbeera nga tolina buyambi.
6. Omumyuka wa Mukwenda mu nnono aweebwa linnya ki? Muwemba.
7. Mu ndagaano ya 900 mwalimu okugaba ettana, Nnamasole wa Kabaka Dawudi Cchwa II yaweebwa bugzi bwenkana ki? Mayilo 16.
8. Musimbya nnyiririr kika kya muddo, tuwe erinnya eddala ery’omuddo ogwo. Akabalira ku mugongo.
9. Olugero: Bweboogera nga basogola.., sibweboogera nga basengejja
10. Ani yawandiika akatabo Muduuma kwe kwaffe? Wyclif Kiyingi
11. Milton Obote bweyawera Obwakabaka, Buganda yagisalamu district mmeka? Nnya
12. Tuwe ekigambo abayizzi kyebeeyambisa okutegeeza ensolo efumitiddwako effumu n’egenda nga tefudde. Engubi.
13. Ekisoko okukuba ez’okumagi kitegeeza ki? Muntu okubeera mu mbeera nga mulwadde muyi.
14. Tuwe erinnya ery’ennono eriweebwa omumyuka wa Ssekiboobo. Nnamutwe.
15. Mu kugaba ettaka mu ndagaano yo 900, nnamasole wa Ssekabaka Mwanga yaweebwa bunene bwenkana ki? Mayiro kkumi.
16. Akamwanyimwanyi kika kya muddo, tuwe erinnya eddala eriweebwa omuddo ogwo. Kayaayaana.
17. Olugero: Abeegeyera ku nsiko… beebawa abataka empoza.
18. Ani yawandiika akatabo Mbayiwa? Waalabyeki Magoba.
19. Obote bweyawera obwakaba Buganda n’agisalamu district ez’enjawulo, district gyeyatuuma West Mengo, ekitebe kyayo yakiteeka mu ssaza Mawokota, kyalo ki? Mpigi.
20. Amakulu g’ebigambo omuyizzi asooka okufumita ensolo byayogera. Bitegeeza nti buli kikolwa eky’obuzira kikolwa ku lwa Kabaka.
21. Okukuba jjejjerebu kisoko, kitegeeza ki? Okusanyuka ng’olina ky’ofunye naye ng’abadde akunyigiriza tayisiddwa bulungi.
22. Erinnya eriweebwa mukyala Ppookino, Kaamugombwa.
23. Mu kugaba ettaka mu ndagaano y’olwenda, olusuku lwa Kabaka lwaweebwa bugazi bwenkana ki? Mmayiro 350.
24. Olukwatabalungi kika kya muddo, tuwe erinnya eddala ery’omuddo ogwo. Lweza.
25. Engalabi Ttimba nabuli kati ekyakuumirwa mu ngoma za Kabaka, ani yagimuwa? Kidombo.
26. Omuganda oluusi enkoko agiyita Walukagga, eba ya ngeri ki? Sseggwanga.
27. Mu lulimi lw’abakomazi mulimu ekigambo Omutunda, kitegeeza ki? Kitegeeza akambe kebeeyambisa okusubula omutuba.
28. Olugero: Ekiyuuni ekiriibwa omukulu… Tekibula nsaanu.
29. Enku zebatemye nebazireka awo nga tezitegekeddwa bulungi ziweebwa linnya ki? Ez’oluzigo.
30. Ekitembe okussa ebiri kisoko kitegeeza ki? Okuba n’omukisa ogutasangika.
31. Oluusi emituba egimu gissaako ebibala, ebibala ebyo biweebwa linnya ki? Entonto.
32. Omuzaana Nnannono e Bbumbu aba wa kika ki? Ngo.
33. Omuti gw’omuyembe ssinga gugaana okumulisa okumala emyaka egy’omuddiringana tugamba nti gukoze gutya? Gusajjawadde.
34. Omuntu abaguliza ku banne ng’enseenene zigudde, akola eddoboozi, liweebwa linnya ki? Wuuli.
35. Olugero Kuno tekuli Kibi, yeerabira ekigenyi.
36. Kitonde ki kyeboogeza nti mukulike enkonge? Kaamukuukulu.
37. Kkoyi kkoyi, sserengeta wammanga awo abaserikale bakukwate. Ssere.
38. Abaganda kiki kyebawanuuza ku mugga Ssezzibwa? Bagamba nti gwazaalibwa buzaalibwa.
39. Waliwo akantu akabeera ku nkola y’ekitooke omuva endu, kaweebwa linnya ki? Ekkundi ly’ekitooke.
40. Eddagala eriyitwa ebirezi, lyeriba litya? Eddagala erinywebwa omukyala ow’olubuto.
41. Akantu akazimbwa mwebengereza ekyuma kiryoke kisaanuuke kaweebwa linnya ki? Akabiga.
42. Ekisoko okuwuga Ennyanja ensiikuufu kitegeeza ki? Okubeera n’ebizibu ebingi n’obigumira.
43. Mu masaza ga Buganda, ssaza ki erifugibwa Ssaabaddu wa Buganda? Kyaddondo.
44. Olugero: Ganaakalira ku nnyagoo…Teyekkaanya agafumbye.
45. Ente ezimu bweziba zikamibwa zisibibwa omuguwa, guweebwa linnya ki? Emboowa.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K












