ENNAKU ZOKUKUBA KAMPEYINI ZO BWA PULEZIDENT ZIFULUMYE

Public Policy Institute (PPI) | Public Policy And Organisational  Development Thinktank

Akakiiko ke byokulonda kateedewo nga 9 omwezi guno ku Monday ejja abesimbyewo ku bwa President okutandikirako okukuba kampeyini.

Enkya ya leero, akakiiko lwe kamalirirza enteekateeka yokunsusulamu abagala okwesimbawo ku kifo kyo bwa President mu nteekateeka eyatadnise olunaku lwe ggulo ku ttendekero lye Kyambogo University.

Mu basuubirwa okusunsulwamu enkya ya leero kuliko, Omubaka Robert Kyagulanyi owa National Unity Platform, Patrick Amuriat owa FDC, Nobert Mao owa DP, Joseph Kabuleeta wamu ne Willy Mayambala, ne Fred Mwesigye, wabula nga bano tebamanyikiddwa nnyo

Ensonda mu kakiiko zitegezzezza CBS nti oluvanyuma lwokumaliriza okusunsulamu abagenda okwesimbawo ku bwa President olweggulo lya leero, Ssentebe wa kakiiko ke byokulonda Omulamuzi Simon Byabakama agenda kulangirira ennaku zokutandikirako kampeyini zo bwa President wamu nobukwakulizo obulina okugobererwa mu kampeyini zinno.

Omwogezi wa kakiiko ke byokulonda, Paul Bukenya, ategezzezza CBS nti enteekateeka zokususulamu abantu abalala abagenda okwesimbawo olwa leero ziwedde era nga basuubira abo abagenda okusunsulwamu okugoberera ebiragiro wamu na mateeka agatereddwawo akakiiko ke byokulonda ne Ministry ye byobulamu okutangira okusasaanya ekirwadde kya COVID 19.

Wabula, Bukenya alabudde abao abatalina bisanyizo ebyaalambikibwa mu mateeka ge byokulonda kwo bwa president obutamalira akakiiko ke byokulonda budde kubanga kalina ebyokukolako ebirala bingi.

Ebyo nga bikyali awo, ebyokwerinda byongedde okunyezebwa mu bitundu bye Kampala ne Wakiso okutangira abantu abayinza okutataganya enteekateeka zo kusunsulamu olwe bigendererwa byaabwe.

Akulira ebikwekweto mu Police, Edward Ochom, gyebuvuddeko yategezzezza nti Poliisi tegenda kukkiriza muntu yenna alowooza okukola efujjo okutatagaanya enteekateeka za kakiiko ke byokulonda.

Bo, abe kibiina kya Forum for Democratic Change, bamaliriziza enteekateeka zokwanjula Patrick Amuriat Oboi eri akakiiko ke byokulonda wadde Poliisi ekedde kuzingako kitebe kye kibiina kino nga nabamu ku bawagizi be kibiina bakwatiddwa.

Amyuka omuwandisi omukulu wa FDC, Harold Kaija agambye nti Poliisi okuzingako ekitebe kyaabwe tekigenda kubalemesa kuwerekera Patrick Amuriat e Kyambogo nga aba NRM bwebekuuze oluanku lwe ggulo nga President YowerI Museveni asunsulwamu.

Agava e Magere, omubaka Kyagulanyi ng’ali wamu ne mukyalawe Barbie Kyagulanyi Itungo nga wetwogerera bino nga bava waka wabula \basoose okwogerako nabaana baabwe nebabasibirira entanda.

Kyagulanyi era asoose kusabirwa esaala omwaana Kityo Alex amanyiddwanga pastor muto eyamusabira mu mwaka 2017 bweyaali anoonya akalulu akamuwangusa ekifo kyobubaka bwa parliament ,era mu saala ya pastor muto eno,asabidde Kyagulanyi ssentamu ebbanga lyonna okwesiga mukama Katonda

Okusinziira ku kulambika Police kweyawa omubaka ono kungeri gyagenda okutambulamu okutuuka e Kyambogo ,ono oluva e Magere agenda kuyita ku mbuzi bwaatyo e kisaasi ,Ntinda stretcher road olunamutuusa ku spear motors ,wanaava okutuuka e Kyambogo ewali emikolo gyokusunsula 

Ye Joel Ssenyonyi omwogezi wekibiina kino  akukulumidde ebitongole byebyokwerinda olwokuwamba ebintu byekibiina kino,naagamba nti kyewunyisa bwabadde agenda e Magere,abebyokwerinda bawambye manvuuli zabadde nazo 

Ku Bantu abagenda okuwerekera omubaka ono aabanokoddwaayo kuliko munnamateeka era president wekibiina kya JEEMA Asuman Basalirwa ,omubaka wa Busiro East Medard Lubega Ssegona ,Joel Ssenyonyi nabalala 

Ate embeera ya bukenke e Kamwokya nga Omub aka Robert Kyagulanyi yeteekateeka okugenda e Kyambogo okusunsulwamu.

…Bo, abakulembeze be kibiina kya DP mu Disitulikiti ye Kyotera basazewo obutwagira Pulezidenti wa DP Nobert Mao kukifo kya Pulezidenti mukulonda okubindabinda nga bagamba nti yalwawo okusaalwo ku nsonga eno.

Bano okusalawo kuno babadde mulukiiko olw’abakulembeze ba DP awamu nabo ab’esimbyewo ku kkaadi ya DP mu Disitulikiti ye Kyotera ng’ababadde kukifo ekisanyukirwamu ekya Sport Highway mukibuga Kalisiizo.

Ssentebe wa DP e Kyotera Tom Balojja agamba nti kyebagala kwekukyusa obukulembeze nga abali ku ludda oluvuganya.

Omwogezi wa DP e Kyotera Robert Muyimbwa agambye nti ekyakolebwa jjuuzi okuba ng’abaali ba derigeeti kyokka n’ebatakirizibwa kugenda Gulu muttabamiruka kyabalaga nti ekibiina ky’ababoola.

Bano begase kube Sembabule, Bukomansimbi ne Lwengo nabo abalangiridde okuwagira Kyagulanyi.

Wabula, omwogezi wa DP Okoler agamba nti Mao basalawo dda nti Mao alina okwesimbawo mu mbeera yonna.

Facebook Comments Box

Be the first to comment

Leave a Reply