Omutawaana gugude ku kyalo Buligita mugombolola ya Kibinge e Bukomansimbi,abaana 3 bwebalumbiddwa ekibiinja ky’enjuki era 2 bafiriddewo.
Abafudde ye Badru Muloki wa myaka 10 egy’obukulu abadde asoma ku ssomero lya Buligita primary school mu kibiina ekya P.3 ne Shaban Muloki wa myaka 3.
Bombi baana ba Kassimu Ndiinya yava mu district ye Budaka n’asenga e Bukomansimbi.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Ssentongo Vincent agambye nti abaana abalumiddwa enjuki babadde bagenze kukuula muddo gw’embuzi okumpi n’ewabadde emizinga gy’enjuki mu nnimiro ya mulirwana nezibalumba nezibaluma.
Omumyuka wa RDC e Bukomansimbi Kalema Fred Pax awabudde abazadde b’abaana abattiddwa enjuki okuwaaba omusango ku police, okuvuuna bannyini njuki abatasaawo bupande bulabula bantu nti waliwo enjuki.
Bisakiddwa: Ssebuufu Mubarak Junior