Bazzukulu ba Lwomwa abeddira Endiga basitukidde mu Ngabo y’ebika by’Abaganda ey’Omupiira gw’ebigere 2022, bakubye bazzukulu ba Ndugwa abeddira Olugave goolo 1-0, ku mupiira ogubaddeko n’Obugombe ku kisaawe e Wankulukuku.
Goolo y’ekika ky’Endiga eteebeddwa muyizzi tasubwa George Ssenkaaba agucangira mu Kitala FC, kyokka tiimu y’Olugave ebadde ekubye goolo y’ekyenkanyi neesazibwaamu olw’abazannyi okuteega.
Tiimu y’Omupiira gw’Abawala ey’ekika ky’Engeye ekubye tiimu y’Emmamba obugoba 37 – 35, era nayo neesitukira mu ngabo y’Omwaka 2022.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yakwasizza abawanguzi bonna engabo, ensimbi enkalu n’emidaali.
Minister w’ebyemizanyo n’Okwewummuzaamu mu Bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, agambye nti ekitiibwa ky’empaka z’ebika mu mizannyo gyonna kyongedde okusituka, neyeebaza abantu ba Buganda abeetabye mu mpaka zino.
Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’empaka z’ebika by’Abaganda Katambala Sulaiman Magala yeebazizza abavujjirizi bonna abaliko kyebatadde ku mpaka zino, omuli n’abayizi b’amasomero agenjawulo.
Ebika nga bwebizze biwangula engabo okuva mu 1950:
1950: Mbogo
1951: Ngabi Nsamba
1952: Mmamba Gabunga
1953: Tebyategekebwa
1954: Tebyategekebwa
1955: Kkobe
1956: Mmamba Gabunga
1957: Nyonyi Nyange
1958: Ngeye
1959: Mmamba Gabunga
1960: Ffumbe
1961: Bbalangira and Kkobe
1962: Nkima
1963: Tebyategekebwa
1964: Mmamba Gabunga
1965: Mmamba Gabunga
1987: Ngabi Nsamba
1988: Lugave
1989: Mmamba Gabunga
1990: Lugave
1991: Ngeye
1992: Ngeye
1993: Nkima
1994: Mmamba Gabunga
1995: Lugave
1996: Mpindi
1997: Nnyonyi
1998: Lugave
1999: Lugave
2000: Mpologoma
2001: Ngo
2002: Mpologoma
2003: Mmamba Gabunga
2004:Lugave
2005: Ffumbe
2006: Mpindi
2007: Ngabi Nsamba
2008: Kkobe
2009: Ffumbe
2010: Nte
2011: Mmamba Gabunga
2012: Ngeye
2013: Ngabi Nsamba
2014: Mmamba Gabunga
2015: Mbogo
2016: Nte
2017: Nte
2018: Nkima
2019: Mbogo
.2020: Tebyategekebwa
2021: Tebyategekebwa
2022: Ndiga
Bisakiddwa: Kato Denis ne Musisi John