Paapa Paul VI yaaalangirira abajulizi ba Uganda 22 ab’eklezi katulika mu lubu lw’abatuukirivu abesiimi nga 18 October, 1964.
Mu mwaka guno 2024 lwegiweze emyaka 60 egijjudde bukyanga balangirirwa, ku mukolo ogwali mu lutikko ya St.Peter’s Basilica e Roma.
Sso nga giweze emyaka 138 bukyanga abajulizi bano baayokebwa nebattibwa olw’eddiini , ku biragiro bya Kabaka Mwanga II mu mwaka gwa 1886, ng’abalanga okumugyeemera nebemalira kukusoma eddiini.
Okutwaliza awamu abajulizi ba Uganda bawera 45, abakatoliki n’abakristaayo, era ebiggwa byabwe byombi biri Namugongo.#