Abantu abatannategeerekeka balumbye omubaka wa president e Mityana Prossy Mwanjuzi nebateekera mmotoka ye omuliro.
Motoka eno kika kya Toyota surf NO.UBM 769S.
Mmotoka bagisanze esimbye mu luggya waasula ku kyalo mizigo mu Central Division mu Mityana Municipality.
Amyuka RDC Prossy Mwanjuzi agamba nti baasoose kuwulira omuntu ng’akuba engombe, bwewaayiseewo akaseera baagenze okulengera ng’omuliro gukutte emmotoka, nga n’oluggi lwayo olumu olwa ddereeva nga luguddwa.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi