Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Namasuba ku luguudo lw’Entebbe, ekimotoka ekibadde kyetisse emitayimbwa kusaabadde abantu 4 babiri nekibattirawo.
Ekimotoka kino No.UBF 561N kibadde kiva Kampala nga kidda Ntebbe, kiremereddwa okusiba nekisaabala ababadde basala e kubbo e Namasuba.
Abamu ku bantu abelabiddeko nagaabwe bagamba nti ekimmotoka kivudde waggulu nga ku freedom city nga kiwenyuukabuweewo, so nga wabaddewo abantu abasala ekkubo nekibasaabala.
Police etuuse mangu era ddereeva akoze akabenje n’akwatibwa bwabadde agezaako okudduka ababddewo nebamwanguyira nebamukwata nebamuwaayo eri police.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti abafudde ye Ssensamba Paul myaka 24 abadde owa bodaboda ng’abadde mutuuze w’e Kibutika, afudde n’omusaabaze gw’abadde aweese Nalubwama Stella omutuuze w’e Kikajjo.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge