Olwaleero nga 31 July,2024 ge matikkira ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, n’okukuza amatikkirage ag’omulundi ogwa 31, kuli mu lutikko e Namirembe.
Okusaba kuno okw’okuntikko n’okujaguza kukulembeddwamu Ssaabalabirizi wa Uganda Bishop Kazimba Mugalu n’Omulabirizi w’e Namirembe Rt Rev.Moses Bbanja.
Ekitundu( 1 Petero 2:11-17)
Ekitundu kisomeddwa Nnalinnya Dorothy Nassolo
Ekitundu ekisomeddwa kigamba bwekiti:
11 Abaagalwa, mbeegayirira ng’abayise n’abatambuze, okwewalanga okwegomba kw’omubiri okulwana n’obulamu;
12 nga mulina empisa zammwe mu b’amawanga ennungi; nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.
13 Mugonderenga buli kiragiro ky’abantu ku bwa Mukama waffe: oba Kabaka nga ye asinga bonna;
14 Oba ab’amasaza, nga ye baatuma olw’okukangavvulanga abakola obubi, n’olw’okusiimanga abakola obulungi.
15 Kubanga Katonda bw’ayagala bw’atyo, mmwe okusirisanga obutamanya bw’abantu abasirusiru nga mukola obulungi:
16 Ng’ab’eddembe, so si ng’abalina eddembe lyammwe olw’okukisa obubi, naye ng’abaddu ba Katonda.
17 Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab’oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa Kabaka.
1 Petero 2:11-17