Kkampuni enkozi y’ebikozesebwa abakyala mu nnaku zabwe (Sanitary pads) eya Shuya Sanitary Napkins esse omukago n’ekitongole kya Nnaabagereka Fund, okubakwasizaako mu ntegeka y’okutaasa abaana abawala n’abakyala abasanga okusoomoozebwa kw’okufuna ebikozesebwa.
Bwabadde atongoza omukago guno mu Bulange e Mmengo, Minisita w’Enkulaakulana y’abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, akoowodde ebitongole n’abantu abalala abalina omutima omulungi okwegatta ku Nnaabagereka bataase abali mu bwetaavu.
Owek. Nakate agambye nti abaami basaana okukitegeera nti embeera z’abakyala ezo eza buli mwezi tezisaanye kubeenyinyaza, kubanga bwe butonde bwabwe, kale nga beetaaga okuyambibwa lwebaba beetaaze obuyambi.
Avunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu kitongole kya Nnaabagereka Fund, Joy Zizinga bwabadde asoma ekiwandiiko ekivudde mu woofiisi ya Nnaabagereka agambye nti waliwo abantu abeefunyiridde omuze gw’okuyeeya abawaka bwebaba mu nnaku zaabwe wamu n’okubasosola, ekiviirako abamu okubeera mu mbeera ey’okwennyika.
Agambye nti omuze guno guviirika abawala bangi okuwanduka mu masomero, okulemererwa okwekkiririzaamu ng’abakyala n’okutawaanyizibwa mu bwongo.
Ategeezezza nti omukago guno gugenderedde okuziba emiwaatwa egy’engeri ngeno olwo abaana abawala n’abakyala bonna baddemu ekitiibwa kyabwe n’okwekkiririzaamu.
Beebazizza aba Shuya olw’okwesowolayo obukuukuubira okukwasizaako Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu kuyamba n’okutaasa abaana ab’obuwala.
Omukago guno gwakumala omwaka gumu olwo guzzibwe obuggya.
Aba Shuya beebazizza nnyo Nnaabagereka olw’okubakkiriza okubaako ettoffaali lyebateeka ku kaweefube we ow’okuyamba n’okutaasa okutereeza embeera y’abantu ba Kabaka awatali kubasosola.
Mu kusooka bawaddeyo ppakiti za Pads 480 ng’entandikwa.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.