Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza lya New England mu America Owek. Henry Ndawula agaddewo ekisaakate ky’abaana abato ekitegekebwa Ekibiina kya Ggwanga Mujje Boston mu Ssaza lya New England buli mwaka.
Ekisakaaate ekimanyiddwa nga Ggwanga Mujje Summer Camp kyategekeddwa ku mulamwa ogugamba nti “Tugunjule emiti emito”.
Mubaddemu okusomesa abaana obuwaggwa n’ennono za Buganda omuli olulimi Oluganda, okufumba, ennyambala, amazina Amaganda n’ebirala.
Ekisaakaate kino ki Ggwanga Mujje Boston kikulemberwamu Rebecca Nansasi, omumyuka we Rhona Nakalyoowa n’abalala.
Owek. Henry Ndawula yebazazizza akakiiko konna akakulembeera ekibiina kino olw’okufaayo okusomesa abaana abali ku mawanga, nebayiga obuwangwa n’ennono zabwe.
Abasabye okwongera okussa ttofaali mu kuzimba n’okuzza Buganda ku ntikko.
Omukolo gwetabiddwako abatendesi omwabadde Omumyuka w’Omubaka Omuk. Fiona Kafeero, banaddiini, Fr. Vicent Kafuuma, Rev. Alex Kasirye, Rev. Canon Ssemanda, Pastor May Kawaala. Omulangira Nicholas Basamulekere, abalangira n’abambejja n’abazadde b’abaan abetabye mu kisaakaate.