Ekibiina ekigata abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association, (UMA), kyagala ekitongole ebirondoola ebiwerezebwa ku Mpewo ekya Uganda Communications Commission (UCC), kiragire Video y’oluyimba lw’omuyimbi Gibson Wabuyu amanyiddwa nga Gravity Omutujju, egyibwemu obutundu obumu bwebagamba nti buvoola ekitiibwa ky’abasawo olw’engeri gyerwakwatiddwamu.
Oluyimba oluvuddeko ensonga luyitibwa Doozi, nga video yaalwo eraga omusawo omusajja ng’akuba omulwadde omukazi empiso mu ngeri eyesittaza.
Dr. Herbert Luswata, akulira ekibiina ekya Uganda Medical Association, (UMA), agambye nti okuva ebifaananyi n’obumu ku butambi bw’oluyimba olwo lwebyatandise okufuluma abantu bangi babakubidde essimu nga balwemulugunyaako, luvoola omulimu gwabwe n’abalwadde bebajjanjaba.
Bisakiddwa : Ddungu Davis