Akakiiko ka parliament akakuba ttooki n’okwekeneenya abantu omukulembeze w’eggwanga babeera awadde obukulu aka Parliamentary Appointments Committee ,kasunsudde Ssabalondoozi w’ebitabo bya government omuggya Edward Akol.
Edward Akol yalondebwa president Museven, eta erinnya lye nalisindika eri parliament okumukubamu ttooki.
Akakiiko kano akakubiriziddwa sipiika wa parliament Anita Annet Among n’omumyuuka we, Thomas Tayebwa kasisinkanye Edward Akol okubaako byekamubuuza, ebikwaata ku kifo kino kyeyalondebwamu.
Obubaka obuvudde mu Offiisi ya sipiika, bulaze nti ebivudde mu nsisinkano eno, byakusindikibwa eri omukulembeze w’eggwanga asalewo ekiddako
Edward Akol ,agenda kudda mu bigere bya John Muwanga abadde mu kifo kino nga saabalondoozi w’ebitabo bya government,ekisanja kye ekyaweddeko.
John Muwanga abadde ssabalondoozi webitabo bya government okuva mu mwaka 2007.
Akakiiko ka parliament kano kekamu, kasunsudde abalamuzi babiri okuli Linda Lilian Mugisha Tumusiime ne Anthony Patrick Wabwiire omukulembeze weggwanga beyalonda okutuula mu kooti ya industrial court .#