Minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Jenet Kataha Museveni afulumizza ebyava mu bibuuzo bya PLE eby’omwaka oguwedde 2024, ku mukolo ogubadde mu maka g’obwapresident e Nakasero.
Bimwanjuliddwa ab’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB nga biraga nti abayizi 797,444 bebaatuula ebibuuzo mu bifo 14,883.
Ebifulumiziddwa biraze nti wabaddewo okukendeera mu muwendo gw’abayizi abafuna obubonera mu ttuluba lya D1.
Abasibe 108 mu makomera okuli Luzira n’e Mbarara bebaatuula era bonna baayise mu madaala ag’enjawulo.
Ku muwendo gw’abayizi bonna abaatuula abaayitidde mu ddaala erisooka bawera 84,301, eddaala ery’okubiri bali 397,589, mu ddaala ery’okusatu 165,284, D4 75,556 ate DU 64251.
Minister Janet Museveni yeebazizza nnyo ab’ekitongole kya UNEB olw’okukola obutaweera naddala okukakasa nga bikolebwa bulungi awatali kusoomoozebwa kw’amaanyi nnyo mu masomero n’abayizi.
Yeebazizza ab’ebyokwerinda abakola omulimu gw’okubikuuma nekikendeeza ku bubbi bwabyo, nga gyebyaggwera abaali bagezaako okubibbirira 68 basimbibwa mu mbuga z’amateeka.
Awabudde abayizi abatafunye bubonero bubakkiriza kweyongerayo mu mutendera oguddako, okuddamu omwaka guno mu P7.
Alangiridde nti okusunsula abayizi abanaayingira mu S.1 omwaka guno kunaabaawo nga 30 ne 31 omwezi guno ogwa January 2025, olwo abayizi ba S1 batandike okusoma nga 17 February.
Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odong alaze obweraliikirivu olw’abakulira amasomero agamu abasala ekkerejje nebawandiisa abaana abatalina kamogo konna, nebabalaga ng’abaliko obulemu olwo baganyulwe mu budde obubongerwamu nti basobole okukola obulungi.
Agambye nti bano babatebuse era baakukolwako.
Ssentebe wa UNEB Prof. Celestino Obua agambye nti omwaka oguwedde 2024 omuwendo gw’abayizi abewandiisa nebatakola bigezo nagwo gukendedde, nti kivudde ku kwongera amaanyi mu kukubiriza abaamasomera okulondoola ebitera okulemesa abaana akukola ebigezo nebinogerwa eddagala.
Mu ngeri yeemu Obua agambye nti omuwendo gw’abayizi abaliko obulemu abaakola ebigezo nagwo gweyongedde nga kivudde ku bazadde okwongere okubatwala mu masomero ng’abaana abalala.
Abayizi abawala bakoze bulungi nnyo mu ssomo ly’Olungereza okukira ku balenzi wabula nabo nebeeriisa nkuuli mu masomo agasigadde.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo.