Kkooti y’amagye e Makindye eyongezzaayo omusango gwa munna PFF Dr. Kizza Besigye okutuusa nga 13 omwezi guno ogwa January,2025.
Kino kiddiridde bannamateeka ba Dr Kiiza Besigye nga bakulembeddwamu munna Kenya Martha Karua ne Ssaalongo Erias Lukwago okugaana okweyongerayo n’olutuula lwa kooti olwa leero, nga bawakanya okukwatibwa kwamunnaabwe Eron Kiiza.
Kiiza abadde yakatuuka mu kkooti n’afuna obutakaanya ne bannamagye, bwawanvuyizza ku ddoboozi ng’awakanya engeri omusango gw’omuntu wabwe gyegukwatiddwamu.
Ayooleddwa bannamagye ababadde bakuuma kooti, natwalibwa mu kaguli awabadde Dr. Besigye ne Obed Lutale Kamulegeya.
Eno taluddeeyo nagyibwayo olw’okutandika okuyimbirayo ennyimba ezigambibwa nti zibadde zisoomooza kooti.
Karua ne Lukwago bategeezezza kkooti nti abantu baabwe babagaanyi okweyongerayo okutuusa nga Eron Kiiza afunye obwenkanya era ssentebe wa kkooti Brig .Freeman Mugabe n’ayongezaayo okuwulira emisango egivunaanibwa Besigye ne munneokutuusa wiiki ejja.
Besigye ne Lutale baggulwako omusango gw’okusangibwa nebyokulwanyisa ebitakkirizibwa mu bantu ba bulijjo.
Bisakiddwa: Ssendegeya Muhammad