• Latest
  • Trending
  • All
Dr. Hage Geingob abadde president we Namibia afudde ! 1941  – 2024

Dr. Hage Geingob abadde president we Namibia afudde ! 1941 – 2024

February 4, 2024
Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa

Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa

July 15, 2025

DP ewezezza abantu 68 abagala okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament – abakulira eby’okulonda mu DP bagamba omuwendo gukyali mutono

July 15, 2025
Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza

Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza

July 15, 2025
Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa  Buddu CBS PEWOSA Sacco

Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa Buddu CBS PEWOSA Sacco

July 15, 2025
Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

July 15, 2025
Government ya Uganda efulumizza trillion 17 okuddukanya emirimu gyayo mu kitundu ekisooka  eky’omwaka gw’ensimbi 2025/2026

Government ya Uganda efulumizza trillion 17 okuddukanya emirimu gyayo mu kitundu ekisooka eky’omwaka gw’ensimbi 2025/2026

July 15, 2025
Gomba eronze Simon Gita ng’omutendesi wa ttiimu y’essaza ow’ekiseera – oluvannyuma lwa Simon Ddungu okusuulawo omulimu

Gomba eronze Simon Gita ng’omutendesi wa ttiimu y’essaza ow’ekiseera – oluvannyuma lwa Simon Ddungu okusuulawo omulimu

July 15, 2025
President Museveni agguddewo mu butongole akatale k’e Busega – abaganyuddwa mu nkola ya PDM mu Kampala aboongedde ensimbi

President Museveni agguddewo mu butongole akatale k’e Busega – abaganyuddwa mu nkola ya PDM mu Kampala aboongedde ensimbi

July 14, 2025
President Museveni agguddewo mu butongole akatale k’e Busega – abaganyuddwa mu nkola ya PDM mu Kampala aboongedde ensimbi

NIRA etandise okufulumya endagamuntu z’abantu ezaali zaggwako – emitwalo 10 zezaakafuluma

July 14, 2025
Omulamuzi Prof.George Wilson Kanyeihamba afudde:1939 – 2025

Omulamuzi Prof.George Wilson Kanyeihamba afudde:1939 – 2025

July 15, 2025
Police ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba NRM e Namutumba – pikipiki z’abawagizi zookeddwa

Police ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba NRM e Namutumba – pikipiki z’abawagizi zookeddwa

July 13, 2025
Gomba eyongedde okuvumbeera – Busujju ejikubye 2-1 mu mupiira gw’empaka z’amasaza 2025

Gomba eyongedde okuvumbeera – Busujju ejikubye 2-1 mu mupiira gw’empaka z’amasaza 2025

July 13, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home World News

Dr. Hage Geingob abadde president we Namibia afudde ! 1941 – 2024

by Namubiru Juliet
February 4, 2024
in World News
0 0
0
Dr. Hage Geingob abadde president we Namibia afudde ! 1941  – 2024
0
SHARES
260
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

President w’e Dr. Hage G. Geingob afiiridde ku myaka 82 egy’obukulu, era ng’abadde ku bujanjabi bw’ekirwadde kya kookolo.

Dr. Hage G. Geingob afudde ssaawa nga 10 ez’ekiro nga 04 February,2024 mu ddwaliro lya Lady Pohamba Hospital mu kibuga Windhoek.

Abadde omumyuka we Dr.Namgolo Mbumba era nga kati y’akolanga president we Namibia y’abikidde Namibia n’ensi yonna.

Mbumba agambye nti wadde president Geungob abadde mugonvu ennaku eziyise, naye abasawo ababadde bamukolako babadde bakola ekisoboka era nga wabaddewo essuubi nti abadde asobola okusuuka ekitasobose, era w’afiiridde abasawo be, mukyala we Monica Geingos n’abaana babaddewo.

Dr.Namgolo Mbumba kati akolanga president ow’ekiseera, era yeyakiikirira Namibia mu lukungaana lwa NAM  (Non Aligned Movement) olwe 19, olwatudde mu Uganda mu January 2024, nga mu kiseera kye kimu mukama we Dr.Hage Geingob yabadde mu ddwaliro ng’ajanjabwa.

Dr. Hage G. Geingob yazaalibwa nga 03 August 1941 mu bukiika kkono bwa Namibia.

Abadde omu ku bantu ab’enkizo abaalwana ennyo okununula Namibia, n’efuna obwetwaze okuva mu mikono gya government y’abakabbulu e South Africa abaali bakulembera Namibia, era yali omu ku baabaga ssemateeka w’eggwanga eryo.

Y’abadde president wa Namibia ow’okusatu okuva mu 2014 mu kalulu keyawangula n’ebitundu 87%, w’afiiridde ng’atambuza kisanja kyakubiri era ekibadde kinaatera okugwako, okuva mu 2019 mu kalulu keyawangula n’ebitundu 56%.

Yaliko ssaabaminister wa Namibia okumala emyaka 12, okuva mu 1990 ekisinde ky’ebyobufuzi ekya Swapo bwekyali kyakakwata obuyinza, naabuddako mu 2012.

Mu January wa 2024, abadde yalangirira nga bwameggana n’ekirwadde kya kkookolo ekyali kimaze akabanga nga kimubala embiriizi.

Mu 2013 yalonngoosebwa ku bwongo, so nga ne mu 2023 yaddusibwa mu ddwaliro e South Africa nebamulongoosa ogumu ku misuwa gy’omutima nateereera bulungi.

Abadde muwagizi wa mupiira era eyagusaambako nga muto, era nebamukazaako lya Danger point.#

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Eyali omubaka Mubaraka Munyagwa atongozza Common Man’s party – akakiiko k’ebyokulonda tekanakiwandiisa
  • DP ewezezza abantu 68 abagala okuvuganya ku bifo by’ababaka ba parliament – abakulira eby’okulonda mu DP bagamba omuwendo gukyali mutono
  • Vipers FC yeddiza omuwuwuttanyi Abdul Karim Watambala – Simba eya Tanzania ebadde emwegwanyiza
  • Katikkiro Mayiga agguddewo ekizimbe MEERU Building e Masaka – kizimbiddwa Buddu CBS PEWOSA Sacco
  • Enteekateeka z’okuziika Omulamuzi Prof.George W. Kanyeihamba zaakulindamu

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist