Eyali ssenkulu w’eddwaliro ekkulu e Mulago Dr. Byarugaba Baterana Bonaventura ne banne abalala 9 bwebavunaanibwa baziddwayo ku alimanjda mu kkomera e Luzira, okutuusa nga 27 June,2024 kooti lwenaasalawo oba nga bayimbulwa ku kakalu kaayo.
Bavunaanibwa okwekobaana nebafiiriza eddwaliro obuwumbi bwa shs 6.3, ezaasasulwa kampuni ezaali zikolera eddwaliro emirimu egyenjawulo wakati wa 2015 ne 2020.
Dr.Baterana abadde alabiseeko mu kooti erwanyisa enguzi n’obulyake, n’asaba yeyimirirwe olw’ebirwadde ebimubala embiriizi, n’emyaka egigenderedde aweza 61.
Aleese abamweyimirira, okuli mukwano gwe Dr.Gideon Kitikiriza , muganda we Dr. Gitimous Baterana ,Omubaka Norman Ocero Labwora County mu Abim District ne Aceera Steven owa Buhaguzi County.
Wabula oludda oluwaabi lutegeezezza nti ensimbi ezaabulankanyizibwa zaakosa obuweereza obwandituusiddwa ku bantu abawerako abaali betaaga obujanjabi okuva mu ddwaliro, nga n’olwekyo tekisaanye kubayimbula ku kakalu.
Omulamuzi wakuwa ensala nga 27 June,2024.
Bisakiddwa: Betty Zziwa