• Latest
  • Trending
  • All

“Charles Peter Mayiga – Waampa Ssaabasajja ” – kati emyaka 12 egya Ddamula

May 12, 2025
Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026

Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026

June 19, 2025
Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga

Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga

June 19, 2025
Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo

Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo

June 19, 2025
Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago

Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago

June 18, 2025
Mu mwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake – abavubuka baweereddwa enkizo okusomesebwa ku nkozesa y’ettaka n’obwegassi

Mu mwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake – abavubuka baweereddwa enkizo okusomesebwa ku nkozesa y’ettaka n’obwegassi

June 18, 2025
Mu Nnamutaayiika wa Buganda ow’okukulaakulanya eby’emizannyo – mulimu okuziimba ebisaawe mu masaza gonna 18 n’okukyusa ttiimu z’amasaza zifuuke Clubs

Mu Nnamutaayiika wa Buganda ow’okukulaakulanya eby’emizannyo – mulimu okuziimba ebisaawe mu masaza gonna 18 n’okukyusa ttiimu z’amasaza zifuuke Clubs

June 18, 2025
President Museveni amalirizza okulambula ebbendobendo lye Mpigi – ayisizza ekiragiro ku babba emmwanyi n’ente sibaakuweebwa kakalu

President Museveni amalirizza okulambula ebbendobendo lye Mpigi – ayisizza ekiragiro ku babba emmwanyi n’ente sibaakuweebwa kakalu

June 18, 2025
Abavubuka abalina byemuyiiyizza mubiwandiise mu miniatry ya Technology mufunemu – Col.Edith Nakalema

Abavubuka abalina byemuyiiyizza mubiwandiise mu miniatry ya Technology mufunemu – Col.Edith Nakalema

June 18, 2025
Abakuumi balwanidde sente shs 13000 e Kabowa – omu asse munne

Omukuumi akubye bakozi banne amasasi 2 naabatta e Mbuya – naye attiddwa

June 18, 2025
Empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 zitongozeddwa – Katikkiro Mayiga akaatirizza ensonga y’empisa mu mupiira

Empaka z’Amasaza ga Buganda 2025 zitongozeddwa – Katikkiro Mayiga akaatirizza ensonga y’empisa mu mupiira

June 18, 2025
FUFA eronze abatendesi ba Uganda Cranes abalala – yetegekera empaka za CHAN 2025

FUFA eronze abatendesi ba Uganda Cranes abalala – yetegekera empaka za CHAN 2025

June 18, 2025
UHPAB ekitongole ekiggya ekigezesa abasawo kitandise okugezesa abayizi baakyo abasoose

UHPAB ekitongole ekiggya ekigezesa abasawo kitandise okugezesa abayizi baakyo abasoose

June 18, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

“Charles Peter Mayiga – Waampa Ssaabasajja ” – kati emyaka 12 egya Ddamula

by Namubiru Juliet
May 12, 2025
in BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
58
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Leero ennaku z’omwezi 12 May,2025, giweza emyaka 12 beddu, bukyanga   Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiima nga 12 May, 2013 naayatula erinnya lya Charles Peter Mayiga naamukwasa Ddamula okubeera Katikkiro ow’okuttaano ku Mulembe Omutebi.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yadda mu bigere bya  Owek. John Baptist Walusimbi.

Katikkiro Charles Peter Mayiga

Mu myaka gino 12, Katikkiro Charles Peter  Mayiga yalambika enkola ey’omulembe omuggya, etambulira ku  Nsonga Ssemasonga 5 ezaayisibwa Olukiiko lwa Buganda;

1.Okukuuma Okunyweza n’okutaasa Nnamulondo
2.Okugabana obuyinza mu nkola ya Federo
3.Okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda
4.Okukola obutaweera
5.Okukuuma Obumu

Mu nteekateeka zino, Katikkiro akuumye   ekitiibwa kya Namulondo omuli okuddaabiriza embiri omuli olwe Bamunaniika, olwe Kireka, n’olwenkoni.

Enkola y’e  “Ettoffaali”;  Katikkiro yatandikira kukulambula amasaza gonna agali ku lukalu ne ku mazzi, agali mu Uganda n’ebweru, n’ekigendererwa eky’okumanya embeera y’abantu ba Ssaabasajja mwebawangaalira n’okubategeeza agafa embuga.

Mu kulmbula kuno abantu ba Kabaka baamutikkanga ensimbi ezaatuumibwa Ettoffaali, era ng’ensimbi zino mwemwava okumaliriza ekizimbe Masengere.

Okuzzaawo Amasiro ge Kasubi n’ebifo eby’Ennono ebirala

Mu nkola y’ettaffaali, Obuganda bwasonda ensimbi ez’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi agaali gaateekerwa omuliro mu 2010.

Katikkiro azze akyogera lunye nti omulimu gw’okuzaawo amasiro gukolebwa mu nkola egoberera ennono n’obulombolombo.

 

Ekitiibwa kya   Buganda   kyongedde okututumuka nga Abagenyi eb’enkizo  omuli abakulembeze b’Ennono , Baanadini , Banabyabufuzi, ebitongole byobwanakyeewa ne government    naabagenyi  bangi   bakiise  embuga.

Mu kisaawe ky’ebyobulamu Katikkiro abadde musaale mu lutalo lw’okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya ng’akubiriza abantu okwekebeza n’okubakunga okwenyigira mu ntekateeka omuli emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka .

 

Obwakabaka buzimbye Amalwaliro okuli   e Busimbi   mu  Singo   , e Mukungwe mu  Buddu  , e  Nsangi mu Busiro ,e Kalasa mu Bulemeezi saako e Nyenga mu Kyaggwe   okuwa abantu ba Kabaka obujanjabi obusokerwaako obwomutindo  era waliwo enkolagana wakati wobwakabaka ne Ddwaliro lye Mengo.

Mu by’obulimi Katikkiro Charles Peter Mayiga wakujjukirwa nnyo olw’okuzuukusa ekirime ky’Emmwaanyi okuyita mu Mwaanyi Terimba, era abalimi   baali bazivudeko   nga bazze ku bilime ebilala nga gyebuvuddeko Ssabasajja yasiima Amasaza negaweebwa Tractor okutumbula ebyobulimi.

Mu ntekateeka yeemu obwakabaka busse omukago ne Kampuni yebigimusa eya Grain Pulse okuzza obugimu mu ttaka ,  Kampuni ya Akvo International egenda okukwasizaako abalimi okufuna ebyuuma ebifukirira ku bbeeyi ensamusaamu ate nga byamulembe, nga obwakabaka bukolaganira wamu ne bank ezenjawulo okuli Stanbic Bank, Equity Bank ne Exim Bank okuwola abalimi nebeefunira ebyuma ebifukirira ebirime.

Eby’enjigiriza by’ongeddwamu amaanyi nga   Ssetendekero wa Muteesa I Royal University yafuna Charter, eby’emikono ku Buganda Royal Insititute ne  Bbowa Vocational biteereddwako essira , saako okuzimba amasomero ga nasale ku Mbuga z’Amasaza  gonna n’ebirala.

Abantu ebenjawulo bayozayozezza Katikkiro Charles Peter Mayiga okuweza emyaaka 12 nga akutte Ddamula.

Katikkiro yebazizza Abakiise mu Lukiiko lwabuganda ,  baminisita , Abakulira ebitongole  nabantu abalala abamukwatiddeko mu buwereeza.

Abantu byebogera ku buweereza bwa Katikkiro

Hope Mukasa agamba nti mumyaaka 12 nga Charles Peter Mayiga ye Katikkiro ,ekitiibwa kya Buganda kyeyongedde okututumuka.

Sseriiso Robert   munywaanyi wa   Katikkiro Charles Peter Mayiga, amwebazizza olw’okulemera kunsonga neekyo kyakilirizaamu nga kimuyambye nnyo okutukiriza obuvunanyibwa bwa Katikkiro.

Moses Luwangula nga waluganda lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga amwebazizza nnyo olwokukukuuma Obuganda nokubukunga mu kuzimba obwakabaka.

Jim Sseremba   eyasikira Kitaawe wa Katkkiro agamba nti Kalabyonna mu myaka 12 nga  akutte Ddamula   atumbudde ekitiibwa kya Namulondo ngayita mukusosowaza obuwanwa.

Lubega Andrew Mulindwa Kojja wa Katikkiro amutenderezza nnyo olwobumalirivu nokulemera kunsonga wakati mu kusomozebwa.

 

Bwanamukulu w’ekigo kya St Joseph Catholic Parish Lweza Rev Fr Emmanuel Ssewannyana agamba nti   myaka 12 egya Katkkiro Charles Peter Mayiga gyabibala eri Obuganda era bamwenyumirizaamu ng’omukristu ategulumiza.

Bikuηaanyiziddwa: Ssebuliba Julius ne Kato Denis

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026
  • Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga
  • Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo
  • Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago
  • Mu mwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake – abavubuka baweereddwa enkizo okusomesebwa ku nkozesa y’ettaka n’obwegassi

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist