Emyaka 28 nga CBS eweereza abantu ba Buganda, Uganda n’ensi yonna okutwalira awamu, ng’eyita ku mayengo g’empuliziganga ne ku mutimbagano.
CBS yasooka okufulumya eddoboozi eryasookera ddala okuweereza abantu, nga 22 June,1996.
Eweereza mu lulimi Oluganda ku mukutu ogwa 88.8 CBM ey’obujajja ne 89.2 Radio Emmanduso, ey’abavubuka ab’omulembe Omutebi.
Emikutu gino gyombi giyungiddwa ne ku mutimbagano okuyita ku www.cbsfm.ug .
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti CB S okuva lweyatandikibwawo ekoze kya muwendo okutuusa eddoboozi lya Ssaabasajja Kabaka mu bantu, eddoboozi lya Katikkiro, eddoboozi lya ba minister.
Katikkiro abaweereza ba CBS n’abaweereza ba Buganda bonna abawadde amagezi okuweereza nga muluubirira okubeera ku ntikko bulijjo.
Ssentebe wa boodi ya CBS Omuk.Mathias Katamba yebazizza abaweereza, abalangirako, abagiwuliririza, na bonna abatambuza emirimu gyabwe nga Radio eno ebayamba naddala abasuubuzi.#