Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n'aggulawo ekikopo ky'omupiira gw'amasaza 2023, mu kisaawe e Wankulukuku. Mawokota ekubye bannantameggwa b'omwaka 2022 aba Busiro ku ggoolo 3-1. Ggoolo za Busiro...
Venansio ssennoga Ono yali muweereza ku Radio Uganda ne CBS. Yakolanga pulogulamu: Ebibuuzo by'abatuwuliriza ku 88.8 n'endala Obuzaale bwe: Yazaalibwa nga 8 July, 1939 mu ssaza Mawokota. Okusoma kwe Yasomera...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Nyinimu Maasomooji Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll olw'ekiragiro ky’Okutandikirawo abantube Radio CBS, ekiyambye ennyo mu kutumbula Olulimi Oluganda, ennono , Obuwangwa n’enkulaakulana...
Ennaku z'omwezi zaali 22 June, 1996 CBS Fm neeyingira amayengo ga Radio, ng'eyita ku mukutu ogwa 88.8. Ssaabasajja Kabaka bweyali aggulawo studio za CBS FM ku...
John Paul Lukwago Mpalanyi ye mubaka wa Parliament akiikirira essaza lye Kyotera ali mu kisanja kye ekisooka ku kaadi ya DP. Mpalanyi Lukwago agamba nti CBS weyagendera ku mpewo nga...
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye ekitongole ky’amawanga amagatte eky’eby’Obuwangwa ki UNESCO kisuumuse Amasiro g'e Kasubi omuli ennyumba Muzibwazaalampanga , kiddemu okutumbula eby'obulambuzi mu Bwakabaka ne Uganda...