Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde Ppaapa Francis, eyava mu bulamu bw'ensi ku Easter Monday nga 21 April,2025 Obubaka obw’okusaasira Eklezia Katolika, Beene abuweerezza Omubaka wa Ppaapa mu Uganda...
Obukadde bwa shs 74 n'Omusobyo bwebusondeddwa abantu ba Kabaka mu nkola ya Luwalo Lwange, okuva mu Masaza Ssingo, Buddu, Kyaggwe ne Mawogola. Bwabadde akwasibwa Oluwalo mu Bulange e Mengo, Katikkiro...
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza ebittavu by'ensimbi byonna mu Buganda okujjumbira okuwa emisolo gya government eyawakati gyonna nga bwegirambikiddwa, bisole okuddukanya obuweereza bwabyo awatali kutaataganyizibwa. Asisinkanye ababikulira okwongera...
Okuzaalibwa kw'Omulangira Mutebi kwatandikira mu biseera ebya kazzigizzigi, nga Kabaka Muteesa Fredrick Muteesa II ali mu buwaηaanguse. "Mu 1954 Kabaka Muteesa yetegula obutiti obwali e Bungereza gyeyali mu buwaηaanguse, neyewogomako...
Abavubuka mu Bwakabaka bwa Buganda basabiddwa okubaako byebakolera Obwakabaka mu kaweefube waabwo owookudda ku Ntikko, nga beewala ebibawugula, era batuukirize nÓkutuukiriza bwebalina. Abavubuka bano basabiddwa nti bwebaba baakugenda mu...