Uganda eddiziddwa ebintu byayo eby’obuwangwa ebyenjawulo ebyali byatwalibwa mubiseera by’abafuzi b’amatwale wakati w’amyaka 1890 – 1920.
Bituusiddwa ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe nga 8 June, 2024.
Minister omubeezi ow’ebyobulambuzi mu Uganda Martin Mugara ne commissioner w’ekkaddiyizo lya Uganda erya Uganda Museum Nyiracyiza Jackline Besigye beebakwasiddwa ebintu bino.
Ab’ekitongole ekikola ku ntambula z’ennyonyi ekya Civil Aviation Authority(CAA) bebabibakwasizza, era ng’akulra ekitongole kino Fred Bamwesigye abaddewo ng’omugugu gw’ebintu bino gutuusibwa, gujjidde ku nnyonyi ya Qatar Airways.
Ebintu bino bikulungudde emyaka egisoba 120 nga bikuumibwa mu kkaddiyizo lya Cambridge University Museum of Archaeology and Anthropology e Bungereza.
Okusinziira ku Commissioner w’ekkadiyizo lya Uganda erya Uganda Museum, Nyiracyiza Jackline Besigye ebintu bino ebyomuwendo ebiwerera ddala 39, nga byali byatwalibwaabafuzi b’amatwale, abaserikale, abantu abaali bakola kukunoonyereza okwenjawulo, saako n’abaminsani.
Mu bikomeziddwawo mulimu engoma, ekitambala ky’okumutwe ekyakolebwa okuva mu nviiri z’omuntu, nga kino kyali ky’aba Lango, ebyanzi okuva mu Ankole, saako Lubaale omuwange owa Buganda saako N’abalongo abasibe 5, nga bano bakukwasibwa obwa Kabaka bwa Buganda baddizibwe mu Masiro e Wamala, ng’enteekateeka ziwedde bulungi – Ebirala ebyakomezeddwawo byakutekebwa mu kkaddiyiro lya Uganda museum.
Besigye ategezeza nti guno sigwemulundi ogusoose, nga ekkaddiyizo lya Bungereza likomyawo ebintu nga bino.
Mu mwaka gwa 1962 ku meefuga ga Uganda agaasookera ddala, Abangereza era abaali abafuzi b’amatwale ga Uganda baakomyawo ebyambalo eby’omuwendo ebya Kibuuka Omumbaale era nga bino byatekebwa mu kkaddiyiro lya Uganda Museum.
Nga 12 June, 2024, ebintu bino ebyakomezeddwawo lwebigenda okukwasibwa Ministry y’ebyobulambuzi mu butongole, ng’omukolo gwakubeera ku kkadiyizo lya Uganda Museum saawa Mukaaga ezomutuntu.#
Bisakiddwa: Diana Kibuuka