Embalirira yÓbwakabaka bwa Buganda ey’omwaka gwébyensimbi 2024/2-25 eyanjuddwa,yakuwemmenta obuwumbi bwa shs 257, nga yakwesigama ku nnyingo 9.
Yeyongedde okulinnya n’obuwumbi 48, okuva ku buwumbi 209 ey’omwaka oguyise 2023/2024.
Ebisiddwako essira
Embalirira eno yakuteeka essira ku nsonga mwenda, omuli Okutwaala mu maaso olutalo lwÓkulwanyisa Mukenenya mu district 3 okuli Masaka, Kyotera ne Kalangala.
Okuteeka ebikozesebwa mu malwaliro gÓbwakabaka mukaaga okuli e Busimbi mu Ssingo, Mukungwe mu Buddu, Nyenga mu Kyaggwe , Nsangi mu Busiro, Kalasa mu Bulemeezi, ne Bukalango mu Kyaddondo.
Okutegeka ensiisira zébyobulamu, Okukungaanya Omusaayi, Okubunyisa amazzi amayonjo; mulimu okusima enzizi 35 ng’Obwakabaka bukolagana ne bannamukago aba Wells of Life, Okutumbula Bulungibwansi, okwongera ku muwendo gw’abantu abettanira Munno mu kabi Yinsuwa yébyobulamu, wamu n’Okutendeka abasawo abazaalisa 6.
Ebisuubirwa okuvaamu ensimbi
Ensimbi ez’okuwanirira embairira eno Obwakabaka busuubira nti zakukungaanyizibwa okuva mu Busuulu, Envujjo nÉkkanzu ku ttaka, nga byakuvaamu Obuwumbi 36.
Mwaanyi Terimba obuwumbi 20.
Ensimbi ezibanjibwa government ziri obuwumbi 12.
Bannamikago Obuwumbi 66.
Satifikeeti, Ebbaluwa, Oluwalo nÉbyettunzi ebyÓbwakabaka Obuwumbi 7.
Ebyemizannyo akawumbi 1.
Obusuulu ku bizimbe Obuwumbi 3.
Ekimu ekyékkumi ku baweereza Obukadde 172.
EbyÁmawulire némpuliziganya Obuwumbi 17.
Ebibiina by’obwegassi Obuwumbi 44.
Ensimbi okuva mu Masaza Obuwumbi 6.
Nkuluze Holdings Obuwumbi 3.
Ebyobuwangwa n’Ennono Obukade 861.
Ebyobulambuzi Obuwumbi 2.
Abawagizi ba Buganda ebweru Obukadde 310 nébirala.
Ebinaasasaanyizibwako ensimbi
Mu mbalirira eno eby’Obulamu bisiddwako obuwumbi 3.428
Ebyenjigiriza Obuwumbi 23.
Mwanyi Terimba obuwumbi 20.
Eby’emizannyo obuwumbi 3.384.
Government ez’ebitundu obuwumbi 8.928.
Bulungibwansi akawumbi 1.079.
EbyObuwangwa Ennono nébyokwerinda akawumbi 1.966.
Amawulire nÓkukunga abantu obukadde 258.
EbyÁmateeka akawumbi 1.
Tekinologiya nÓbuyiiya Obukadde 451.
Okuddukanya emirimu mu Nkuluze obuwumbi 18.
Okulabirira ettaka BLB obuwumbi 12.
Okuddaabiriza n’okuddukanya ebizimbe obuwumbi 2.689.
Ebyempuliziganya Obuwumbi 15.
Ebikwaata ku baweereza obukadde 422.
Okumaliriza Amasiro ge Kasubi akawumbi 1.
Okuteekateeka okuzimba nÓkumaliriza Embiri obuwumbi 8.
Ensasaanya ku Certificate nÉbbaluwa wamu nÓluwalo ssaako ebyobusuubuzi obukadde 850.
Okuddaabiriza Twekobe nÓkulabirira Olubiri lwÉmengo obukadde 506.
Okwekulaakulanya Obuwumbi 61.
Bw’abadde ayanjula Embalirira yÓmwaka gwébyensimbi mu Lutuula olukubiriziddwa Owek Patrick Luwagga Mugumbule wamu n’Omumyukawe Owek Haji Ahmed Lwasa, Omuwanika w’Obwakabaka era Omumyuuka owokubiri owa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, agambye nti abantu ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo bongeredde ddala okuwagira emirimu gya Ssaabasajja Kabaka , ekiwa Buganda essuubi ly’okudda ku Ntikko.