Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka entongole ezinaagoberwa mu kujaguza n’okujjukira Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 31.
Eyanjuddwa Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi era minister w’Ebyobuwangwa, Ennono, Amasiro, Embiri, Ebyobulamuzi, Eby’okwerinda n’Olulimi Oluganda, Owek. Dr. Anthony Wamala, ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo.
Agambye nti ku mulundi guno essira liteereddwa ku kusabira Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda bwonna.
Enteekateeka z’amatikkira zitandika nga 17 July, n’okuggulawo ekkaddiyizo n’etterekero ly’ebitabo ku kitebe ky’ebyobulambuzi ekya Buganda, okumpi ne Butikkiro e Mmengo.
Ku lunaku lwe lumu wakubaawo n’okuggulawo agamu ku malwaliro ga Buganda okuli ery’e Nsangi mu Busiro ne Kalasa mu Bulemeezi.
Nga 24 Kasambula wanaabaawo okujaguza emyaka 25 egy’ettendekero lya Buganda ery’ebyemikono erya Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Mmengo.
Ku lunaku lwerumu era nga 24 July, wanaabaawo omusomo ogw’enjawulo ku nsonga y’Obumu kubanga omulamwa gw’okujjukira amatikkira ogw’omwaka guno awo wegusimbye.
Nga 26 July, wakubaawo Okusaala okwenjawulo mu mizikiti gyonna mu Buganda olw’okujjukira amatikkira ga Ssaabasajja n’okumusabira.
Nga 27 July, okusaba n’okusinza mu Kkanisa zonna eza Abaseveniside okwetooloola Buganda yonna.
Ku lunaku luno era ku bisaawe yonna enaabeera emipiira gy’Amasaza wakuweebwayo akadde k’okujjukira amatikkira (Coronation Moment).
Ku lunaku lwe lumu, wakubaawo n’omuzannyo gwa Golf ku Kampala Golf Club, okujjukira amatikkira.
Nga 28 July,okusaba n’okusoma mu Kkanisa zonna ezaba Protestante, abalokole ne mu Eklezia ne Eklesia zonna mu Buganda.
Ku lunaku olwo era wakubaawo n’empaka z’omweso.
Nga 30 July, wakubaawo omusomo ku bumu mu masomero gonna mu Buganda, okusiga ensigo eno mu baana abato bakule nga bategedde omugaso gw’obumu.
Mu mbeera eno Owek Wamala asabye abakulu b’amasomero n’abazadde okutwala ensonga eno nga nkulu ddala.
Entikko y’emikolo yakubeera ku lutikko ya Omutukuvu Paul e Namirembe nga 31 July,2024 ng’Omulabirizi w’e Namirembe Moses Bbanja yaasuubirwa okukulemberamu okusaba okwo okuneetabwako abantu ba Kabaka bonna.
Omulamwa gw’okujjukira amatikkira g’omulundi guno gugamba; “Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo”.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.